TOP

Ente 2,000 ze zifa buli mwaka mu kyeya e Ngoma

By Herbert Musoke

Added 16th July 2019

ABALUNZI mu bintu by’e Ngoma bakubidde gavumenti omulanga okubayamba ku kusoomoozebwa kw’amazzi okubakosa ennyo ne bafiirwa ebisolo byabwe.

Nyiga 703x422

Meeya w’ekibuga ky’e Ngoma, Wasswa Ziritwawula bwe yabadde ayogera mu mwoleso gw’obulunzi ogwabadde ku Klezia ya St. Cyprian - Ngoma, ogwategekeddwa aba Brookside Ltd.

Yagambye nti buli sizoni y’ekyeya abalunzi mu bitundu bino bafiirwa ente ezisoba mu 2,000.

“Tulina ebitusoomooza eby’enjawulo ebitulemesa okufuna mu bulunzi omuli; ebbula ly’amazzi nga buli ekyeya lwe kitandika tufiirizibwa nnyo. Eddagala ly’ebicupuli nalyo litufiiriza era tulina obweraliikirivu ku ttaka olw’abaagala okusengula abantu”, Meeya Wasswa bwe yagambye.

Bino yabadde abigamba eyali minisita w’ebyensimbi n’amasannyalaze era omubaka wa Nakaseke North mu Palamenti Syda Bbumba, abagenyi n’abalunzi okuva e Ngoma, Kyankwanzi, Luweero, Kiboga, Nakaseke, Nakasongola ne disitulikiti endala.

Bbumba, yabakubirizza okweyambisa tekinologye n’okukuuma omutindo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...