TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya Mukono lubanguddwa

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya Mukono lubanguddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2019

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 703x422

Aba Mukono Development Fund batandise okukola emirimu gyako

Bya Joanita Nakatte

Olukiiko lwa Mukono Municipal Development Forum oluvunaanyizibwa ku kuyamba Mmeeya okukulaakulanya ekibuga lwasomeseddwa engeri gye lugenda okukola emirimu gyalwo mu kaweefube w’okwongera amaanyi okukulaakulanya Mukono.

Omusomo guno ogw’olunaku olumu gwategekeddwa ku Festino City mu muluka gw’e Ntaawo era nga bakkansala ab’enjawulo baabanguddwa ku nsonga z’okutunuulira ebitannateekebwamu maanyi, bwe balina okubikola n’abantu abatuufu be balina okutuukirira okulaba ng’ensonga ezo zikolebwako.

Enkola ya Municipal Development Forums (MDF) yatandika okussibwa mu nkola mu bibuga ebyalondebwa mu 2010, oluvannyuma lwa gavumenti okuzuula obwetaavu bw’okunnyikiza obukulembeze n’enkulaakulana y’ebibuga ng’eyita mu nkiiko zino ezitali za byabufuzi era nga kino kyakolebwa okusinziira ku misinde ebibuga gye bikulaakulanirako mu ggwanga.

Gavumenti ng’ekolagana n’ab’omukago omuli Bbanka y’ensi yonna, ekitongole ky’Amawanga Amagatte eky’ebyenkulaakulana ekya UNDP, akakiiko akafuga eby’amayumba UN Habitat, baatandika obukiiko mu munisipaali zino ezeegulidde erinnya mu kukulaakulanira ku sipiidi nga eya Mukono.

Bano baabanguddwa okutunuulira embeera z’abantu, okulongoosa eby’obuyonjo, ebyobulamu, enkung’aanya ya kasasiro, okukuuma ebibuga nga biyonjo, okusobozesa abantu okukozesa ettaka mu bibuga mu ngeri eteri ya kunyigirizibwa, okutereeza ebyentambula, n’ebirala.

Ng’ayogera eri ab’olukiiko luno, amyuka Town Clerk wa Mukono, Alex Nanyonga Seruwagi yasiimye Pulezidenti Museveni olw’okulabira ewala n’awoma omutwe mu kutandika obukiiko buno, n’agamba nti bugenda kukola kinene mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka bwe yayogeddeko ng’obukudde ejjembe mu bibuga ensagi zino.

“Lino ly’ekkubo eryangu mwe tugenda okuyita okutebenkeza embeera mu bibuga era tusuubira okukolagana n’olukiiko luno olwa Municipal Development Forums (MDF) ne kkanso y’ekibuga Mukono mu kuddukanya emirimu gyaffe. Tuli beetegefu okukola buli ekisoboka okulaba ng’ebitusomeseddwa tubituukiriza,” Sseruwagi bwe yagambye.

Omukwanaganya w’enkola eno mu ministule y’ebyettaka, eby’amayumba n’okukulaakulanya ebibuga, Stephen Bogere Mubinzi yakubirizza ab’olukiiko okuyiga embeera z’abantu be bagenda okukolamu omulimu, kibanguyize okumanya ebyetaago byabwe n’engeri gye bagenda okubituusa eri kkanso y’ekibuga okusobola okubigonjoola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...

Gendayo 220x290

Kiki ekinakuwazza Naava Grey?

NAYE kiki ekyanyiizizza omuyimbi Naava Grey alyoke anakuwalire ku mukolo gwa munne bw’ati!