TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza ab'e Kigunga - Mukono

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza ab'e Kigunga - Mukono

Added 16th July 2019

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e Kigunga

 Omutuuze ng'ali ku mulyango gwa Mbabazi we baayiye omusaayi

Omutuuze ng'ali ku mulyango gwa Mbabazi we baayiye omusaayi

Bya Joanita Nakatte

Abatuuze ku kyalo Kigunga mu munisipaali y'e Mukono baguddemu ekyekango oluvannyuma lw'omuntu atannategeerekeka okuteeka ebigambibwa okuba ebyokoola mu mulyango gwa mutuuze munnaabwe Denis Mbabazi.

Bano baasanze omusaayi n'omusaalaba nga guwandiikiddwaako ebigambo nti, "Death on time" ekyaleese okutya wakati w'abafumbo ababadde bapangisa ku mizigo gya Sowali Maseruka.

Denis Mbabazi, akulira ebyokwerinda mu kkolero ly'emmere y'enkoko eya Biyinzika yannyonnyodde nga bwe yasoose okuwulira oluyoogaano wabweru w'omuzigo gwe ekyamuwalirizza okuggulawo oluggi era  kwe yakubye amaaso.

"Nakomyewo ku ssaawa nga munaana ez'ekiro nga bulijjo wabula sirina kye nasanzeewo. Siyinza kuteebereza ayinza okuba nga yakoze kino kubanga sirina ntalo na bantu ku kyalo kino wadde ku mulimu gye nkolera. Ndi musajja mukkiriza era tewali kigenda kuntuukako," Mbabazi bwe yannyonnyodde.

 musaayi ogulimu omusaalaba okwawandiikiddwa obubaka obutiisatiisa okufa Omusaayi ogulimu omusaalaba okwawandiikiddwa obubaka obutiisatiisa okufa

 

Ssowali Maseruka, nannyini nnyumba yategeezezza ng'omu ku bapangisa be bwe yaddukidde gy'ali n'amutegeeza nga bwe wabaddewo ekitali kituufu ku bafumbo bano olw'okulaba omusaayi nga gufubutuka mu nnyumba era awo we yakubidde Poliisi ne Ssentebe w'ekyalo okujja okulaba ekibatuuseeko.

"Ffe twalowoozezza nti, baabadde bettidde mu nnyumba era ye sitatimenti gye twawadde poliisi nga tennatuuka. Ekyayambye nti, Poliisi yaluddewo okutuuka era oluvannyuma lw'oluyoogaano baatuwulidde ne bafuluma nga tebalina buzibu," Maseruka bwe yategeezezza.  

Steven Wangula, Ssentebe w'ekyalo kino yagambye nti, aludde okulaba ebikolwa nga bino ebyokweraguza ku kyalo kino n'asaba abatuuze okwewala ennyombo ku bantu n'okukozesa okusirika ng'ekyokulwanyisa okwewala ebintu ng'ebyo.

Ono yateeberezza okuba nti ebintu bino byakoleddwa omu ku bantu Mbabazi baakola nabo mu kkampuni ya Biyinzika olw'empalana z'emirimu ezitaggwa mu kkampuni nga zino.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono