TOP

Temusimbira nkulaakulana kkuuli

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2019

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 703x422

Abagirimaani n'abasomesa ssaako abayizi nga balaba omulimu ogwakoleddwa okuzimba kaabuyonjo

Bya Joanita Nakatte

Omubaka wa Mukono South, Johnson Sennyonga Muyanja awadde Bannayuganda amagezi bulijjo okukolagananga n'abantu abaleeta enkulaakulana mu bitundu byabwe, mu kifo ky'okusimbira ekkuuli entegeka zaabwe olw'okuba n'endowooza z'ebyobufuzi ez'enjawulo.

Yasabye abatuuze okukomya enkola ey'okuwakanya enkulaakulana ereetebwa abantu bwe batassa kimu mu bya bufuzi, n'agamba nti abantu ab'engeri eno baba bayamba ku gavumenti okunnyikiza enkulaakulana wansi mu bantu naddala mu byalo.

“Mulimu gwaffe ng’abakulembeze okuwagira n’okuteeka amaanyi mu nkulaakulana eziba zireeteddwa naddala bamusigansimbi era eno y’enkola gye tuyinza okweyambisa okwegobako obwavu n’okuyamba abaana baffe,” Muyanja bwe yagambye.

 bazadde bessomero nga balambula kaabuyonjo eyazimbiddwa abaana baabwe Mmeeya Sennyonga (awanise omukono) n'abazadde b'essomero nga balambula kaabuyonjo eyazimbiddwa abaana baabwe

 

Yabadde ku ssomero lya Nakibanga Primary School mu ggombolola y'e Ntenjeru gye yayitiddwa ng’omugenyi omukulu ku mukolo ogw’okuggulawo kaabuyonjo empya ezaamazeewo obukadde 46.

Omulimu guno gwawagiddwa abazirakisa ab'ekibiina kya Visions for Children okuva e Bugirimaani ng’obuyambi buno bwayisibwa mu kibiina ekisakira obuyambi abantu abatalina mwasirizi ekya Katosi Inter Community Development Alliance (KIDA).

Stevenson Kadiama, akulira essomero lino yakiikidde ensingo abazadde abasajja be yagambye nti beesuuliddeyo gwa nnaggamba mu kulabirira abaana olwo bo ne bakola gwa kuzaala buzaazi omugugu ne bagulekera abakazi.

 mubaka ennyonga ngayogera eri abazadde nabalala abaabadde ku mukolo Omubaka Sennyonga ng'ayogera eri abazadde n'abalala abaabadde ku mukolo

 

Yasabye omubaka w'ekitundu, Johnson Muyanja okwanja mu Paalamenti etteeka erikangavvula abasajja abeegumbulidde ogw'okuzaala ne baleka awo abaana baabwe nga tebalina kulabirira kumala.

Akulira ekibiina kya KIDA, Tonny Kabuye yasabye abatuuze obutakotoggera nkulaakulana ereetebwa mu bitundu byabwe nga beesigamya okusalawo kwabwe ku ndowooza zaabwe ez'ebyobufuzi, n'agamba nti bo ng’abasiga ensimbi mu mirimu gino tebalina kye bafiirwa okugitwala mu bifo ebirala gye bagyetaaga.

Eyakulidde ekibinja ky'Abagirimaani, Muky. Hila Limar yagambye nti basanyufu okufuna omukisa okwetaba mu nkulaakulana y'eggwanga nga bayita mu kutumbula eby’ensomesa, bye yagambye nti bikulu mu kutwala eggwanga lyonna mu maaso.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...