TOP

Grace Nakimera akomyewo na maanyi mu kuyimba

By Martin Ndijjo

Added 17th July 2019

Grace Nakimera akomyewo mu nsike y'okuyimba abadde yawummulamu asooke atereeze obufumbo

Naki 703x422

Grace Nakimera

OMUYIMBI Grace Nakimera amaze ebbanga ng’asiriikiridde. Bwe twamubuuzizza gy’abadde yatugambye nti omwami yamugamba asooka awummuzaamu omuziki atereeze ensonga z’amaka. Kyokka agamba nti kati akomyewo ‘naloo’ abalage waaka.

Nakimera yasemba okufulumya oluyimba ‘Twala byange’ mu 2016 ne David Lutalo. Yategeezezza nti ebibadde bimubuzizza yabimalirizza ng’ate n’okwaka akyayaka kati kye kiseera addemu abawe omuziki.

Agamba nti omwami we yali yeemulugunya obutamuwa budde omuziki n’asooka aguta awe famire obudde era kimukoledde n’okutereeza ebyali bisobye.

Azze n’oluyimba lw’eddiini lwe yatuumye ‘Anviriddeyo’ nga yeebaza Mukama okumubeererawo.

 race akimera nabamu ku baana bazze ayamba Grace Nakimera n'abamu ku baana bazze ayamba.

Bwe yabuuziddwa oba ddala anaamalako n’okuvuganya okweyongedde mu nsike y’okuyimba ensangi zino,

Nakimera yagambye nti tali mu byakuvuganya, akomyewo kuyimbira bawagizi be abamazze ebbanga nga bamusubwa.

“Nsooka okusiima abaana abaliko kubanga ekintu bagezezzako okukikwasaganya n’abayimbi abalemedde ku maapu bakoze kyamaanyi ate njagala okubakakasa nti nze size kuvuganya muntu yenna ngenda kukola byange. Nkimanyi sitayiro yange tewali agirina era bangi babadde bagisubwa naye kati nkomyewo mbalage waaka.”

Nakimera agamba ku mulundi guno agenda kufulumya ennyimba z’eddini nnyingi ko era tagenda kuva ku mulamwa gw’okuyimba ennyimba ezizzamu abantu essuubi nga ‘Liziki yo, Kawoonawo n’endala.

 maka akimera gazimbidde abaana e ganga Amaka Nakimera gazimbidde abaana e Iganga.

Ng’ogyeko ensonga z’amaka, Nakimera agamba mu birala ebibadde bimubuuzizza abadde yeemalidde nnyo ku bizinensi nagattako okulabirira abaana abatalina mwasirizi e Nakalama – Iganga, Mukono n’awalala.

Agamba nti kino takikola kunoonya ssente nga abantu abamu bwe balowooza wabula olw’omutima gwe omugabi era omusaasizi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...

Simba 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi