TOP

Mulunde ebyennyanja - Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 17th July 2019

Mulunde ebyennyanja - Museveni

Seb2 703x422

Museveni ng’asala keeki n’abakulembeze abakyala e Lugogo eggulo.

PULEZIDENTI Museveni awadde Bannayuganda amagezi okulunda ebyennyanja buli asobola kubanga bisoboka, byetaaga ekifo kitono, birina akatale ate tebyetaaga ssente nnyingi.

Museveni eyabadde asisinkanye abakulembeze ba NRM okuva mu disitulikiti z’amassekkati ga Uganda omuli Luweero, Mpigi, Mukono, Buikwe, Butambala, Buvuma, Gomba, Kayunga, Nakaseke ne Nakasongola, yabasabye okusaasaanya enjiri mu bantu ba wansi nti obulimi bwokka bwe bujja okuggya Uganda mu bwavu. Yabadde Lugogo mu kisaawe kya Cricket eggulo ku Lwokubiri.

Yagambye nti buli maka geetaaga okwettanira okulima n’okulunda basobole okwebeezaawo kuba bafunamu emmere, esigaddewo ne bagitunda okwefuniramu ensimbi.

Museveni agamba nti okulima ebintu ebimu ng’ebikajjo, ppamba n’ebirala byetaaga ebyuma eby’amaanyi nga tulakita, ssente nnyingi n’ettaka ddene abantu abasinga bye batalina so ng’ebyennyanja osima kidiba ng’obissaamu ng’otandika kubiwa mmere ne bwe kitabeera kinene kibimala.

Abakulembeze bonna abaabadde mu lukiiko baayongedde okukikooneramu Museveni yeesimbewo mu kulonda kwa Pulezidenti mu 2021 nga tavuganyiziddwa muntu yenna mu kamyufu ka NRM.

Museveni yategeezezza nti, NRM yajja mu buyinza okusomesa abantu b’awansi ebintu ebimu bye batamanyi omuli n’okubeera nti omuntu asobola okulima emmere ku ttaka ettono ly’alina n’awona okufa enjala n’abantu be ate n’atundako n’aba ne ssente mu nsawo.

Kwe kusaba abakulembeze ku mitendera gyonna babisomese be bakulembera. Ku mukolo guno ogwajjuzza ekisaawe kya Cricket e Lugogo, abakulembeze abakazi mu NRM baatonedde Pulezidenti Museveni keeki gye baakoze mu bbaasi nga kuliko n’enkoofiira ng’eyiye gy’ayambala olwo ne bassaako ebigambo: MZEEI FOR 2021 (ekitegeeza nti Muzeeyi gwe twagala mu 2021).

Keeki eno Pulezidenti yagisaze n’abakyala bano wakati mu nduulu ey’oluleekereeke ng’abalala bwe bakuba emizira n’engalo okwongera okukkaatiriza obuwagizi bwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu