TOP

Sikyalina mukwano eri mukyala wange

By Musasi wa Bukedde

Added 17th July 2019

Nnalina omukyala n’anoba okumala emyaka etaano ate bwe yamala n’akomawo era ne muleka kyokka nga sseegatta naye kubanga si nze nnamugoba. Mu kiseera ekyo nnali nfunye omukyala omulala naye ng’abeera wuwe.

Ssenga1 703x422

Nnasalawo omukyala ono mufunire w’abeera kubanga mulinamu abaana babiri.

Ssenga nasazeewo okuviira omukyala omukulu kubanga sikyalina mukwano gy’ali kyokka bazadde be bahhamba nti nnina okusigala naye.

Nze ekyo sikisobola ssenga, mpa ku magezi. Mwana wange oli muntu mukulu era ggwe olina okwesalirawo ku nsonga eno. Omukyala oyo yanoba n’agenda ate n’akomawo nga tomugambye.

Y’amanyi lwaki yakikola kuba ggwe wali wamuvaako ng’ofunye n’omukyala omulala.

Kati ate bw’akomawo n’omuwa ekitiibwa nga maama w’abaana, talina kukusalirawo. Wamukkiriza akuze abaana nga omusajja omutegeevu bw’alina okukola. Kitegeeza omukwano wasigaza gwa baana.

Yalowooza mu maaso ojja kumuddiramu. Genda mu maaso n’endowooza gy’olina ey’okuba n’omukyala akuwa emirembe.

Ekikulu olina okusigaza obuvunaanyizibwa ng’olabirira amaka go n’abaana. Bazadde b’omukyala ono basobola okuba nga tebamanyi kiriwo nga yabagamba nti yakomawo ng’omukyala ddala.

Weetaaga okubannyonnyola. Obanga ddala yali ayagala obufumbo yandibadde akomawo mangu ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600