TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gav't ereese etteeka eriwera okutunda n'okugula mmotoka enkadde

Gav't ereese etteeka eriwera okutunda n'okugula mmotoka enkadde

By Muwanga Kakooza

Added 17th July 2019

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.

Carbond0023scmyk7034221 703x422

Mu tteeka lino erikyali mu bubage eryanjuddwa minisita w’ebyentambula, Monica Ntege Azuba emmottoka zonna ezisussa  emyaka omunaana bukyanga zikolebwa tezigenda kuKkirizibwa kulEetebwa mu Uganda.

Ebbago lino lireteddwa kulongoosa mu tteeka ly’ebidduka n’obutebenkevu bw’oku nguudo erya ‘ Traffick and Road  Safety Act , eryayisibwa mu 1998.

Eyabadde akubiriza palamenti  omumyuka wa sipiika Jacob Oulanyah yalisindise mu kakiiko ka palamenti ak’ebyentambula kongere okulyekenenya.

Ku nsonga endala mu lutuula luno  omubaka Odonga Otto (Aruu North)  yasabye gavumenti ennyonnyole mu butongole emitendera egirina okuyitibwamu omuntu asudde ‘’endaga muntu’’ okuddamu okufuna empya ne wa gy’ayinza okugisaba.

Wabula Minisita w’ensonga z’omunda Obiga Kania yagambye nti kituufu abantu abasuula ‘endaga muntu’  basanga obuzibu okuddamu okufuna empya.

Yagambye nti agenda  kujja n’ekiwandiiko ekinnyonnyola akawonvu n’akagga ku bikwata ku kuwandiisa abantu n’endaga muntu.

N’agamba nti n’ekitongole ekivunaanyizibwa kuwandiisa abantu ekya NIRA tekiwandiisa balonzi wabula Bannayuganda bonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600