TOP

Enkambi ya Teddy evuddeyo ku by'obugagga byabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2019

ENKAMBI ya mukyala wa Bugingo ow’empeta Teddy Naluswa Bugingo etangaazizza nti, Teddy takkaanyangako kugabana byabugagga byabwe ne Bugingo.

Teddybugingoaloysius 703x422

Babujjingo

Kiddiridde amawulire Bukedde ge yafulumya ku Ssande nga July 7, 2019 agaaliko omutwe nti, Teddy akkaanyizza ne bba Bugingo okugabana ebyobugagga byabwe ebiteeberezebwa okuva mu buwumbi bubiri n’omusobyo.

Aba Teddy baategeezezza nti tebakkaanyangako ku kino era ebyaliwo mu kkooti y’e Kajjansi ku Lwokutaano nga July 5, 2019, bombi baali bateesa ku kya kuggya musango gwabwe okuva mu kkooti y’e Kajjansi okugutwala mu Kkooti Enkulu so si kugabana byabugagga.
 
Baayongeddeko nti ye nga Teddy n’eky’okugattululwa ne bba takyagala ate mu kiseera kino ensonga eri mu kkooti ya kusalawo oba kkooti y’e Kajjansi erina obuyinza okuwulira omusango ogulimu ssente ennyingi nga Teddy agamba nti terina buyinza ky’ava ayagala omusango guggyibweyo gussibwe mu Kkooti Enkulu.
 
Omulamuzi aguli mu mitambo Mary Babirye yalagira nti ajja kuwa ensala ye nga August 21, 2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...

Simba 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Ku1 220x290

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe...

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo