TOP

Abasumba bye baatudde ne basalawo ku Bugingo

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2019

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa Bishop Joshua Lwere akulira ekibiina kya National Fellowship of Born-Again Pentecostal Churches (NFBAPC).

Abasumba 703x422

Omusumba Bugingo. Ku ddyo, Teddy Bugingo lwe yagenda mu kkanisa yaabwe oluvannyuma lw’ebbanga nga talinnyayo.

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa Bishop Joshua Lwere akulira ekibiina kya National Fellowship of Born-Again Pentecostal Churches (NFBAPC).

Bennyamidde olwa munnaabwe Bugingo okweyisa mu ngeri etyoboola ekitiibwa ky’Omusumba n’atuuka okwanika obuziina bw’amakaage mu lujjudde. Ssinga ebyagudde mu maka ga Bugingo byatuuse ku muntu waabulijjo oba endiga Bugingo gy’asumba, olwo Bugingo yandibadde awabula abafumbo abo ensonga zaabwe bazikuume nga za kyama.

Ne bagamba nti Bugingo tabuulirirwa kubanga mu bwetowaze baasituka nga May 14, 2019 ne bagendayo ne bamusisinkana ne bakkaanya ku nsonga ez’enjawulo okuli bw’ateekwa okukwatakamu obutakkaanya ne mukazi we Teddy Naluswa.

“Bugingo yatulaga nga bw’amenyese era n’akkiriza okuwabulwa kyokka waayita mbale n’akola birala”, Abasumba bwe baategeezezza.

Olukiiko lw’abasumba lwetabiddwaamu Rev. Dr. Simon Emiau ssentebe wa Evangelical Fellowship of Uganda (EFU), Bishop Daniel Waddimba omwogezi wa NFBPC n’abalala.

BYE BASAZEEWO KU BUGINGO

Olukiiko nga luwedde baafulumizza ekiwandiiko omuli ebyasaliddwaawo.

1 Baasazeewo okuvumirira, okuwakanya n’okwesamba Bugingo by’akola ne by’ayogera kubanga bivumaganya abalokole.

2 Waddimba yategeezezza Bukedde nti bw’obeera ne mwannyoko oba mugandawo n’okizuula nga musezi osobola okusalwo okwawukana naye kyokka n’omuleka nga mulamu.

N’agattako nti ebyawandiikibwa tebikkiriza kuyisa muntu nga gw’otadde mu geyeena, Bugingo mu maaso eyo bw’anaasalawo abayite baddemu okwogera bajja kukikola. Era bw’anaakyusa n’adda ku mulamwa okutambulizibwa emirimu gy’Obusumba bajja kumuddiramu.

3 Mu kiwandiiko kyabwe, baajulizza nti bamaze ebbanga nga basisinkana Bugingo n’okumulagira okukyusa ku neeyisa naye abadde abawuddiisa bye yeeyamye okukola ate n’atabikola. Baawadde ekyokulabirako lwe baasituka ne basisinkana Bugingo ku leediyo ye e Lungujja.

Olunaku olwo abakadde b’ekkanisa baakulemberwa Lwere eyawerekerwako abakadde abalala- Alex Mitala, Peterson Ssozi ne Bishopu Morris Bukenya. Baaluhhamya Bugingo akomye okukozesa emikutu gye egyamawulire okugonjoola ensonga z’amaka ge.

4 Kuno baayongera okumubuulirira nti ssi kya mpisa ne Bayibuli tekikkiriza okwanika mukyalawe mu lujjudde ne bamuwa amagezi ayawule ensonga z’amakaage ku kkanisa.

Bugingo yabalaga nti amenyese era ne yeeyama okugoberera bye bakkaanyizzaako. Ne bamuwa akakwakkulizo nti bagenda kutwala emyezi esatu nga bamwetegereza bakakase oba ddala agoberedde bye bakkaanyizzaako.

Omulundi ogwasooka abakadde baasisinkana Bugingo ku ntandikwa ya May, bwe baava mu nsisinkano Bukedde n’ayogera n’abamu ku baaliyo era ku olwo Lwere yayogera ne Bukedde n’ajuliza mu Matayo 18:15-17 nti muganda wo bw’akukola obubi genda omubuulirire ggwe naye mwekka, bw’akuwulira olwo ng’ofunye muganda wo.

Bino olwagwa Bugingo mu matu n’akkakkana ku bakadde abaamusisikana n’abagugumbula ng’agamba nti yali amanyi asisinkanye basajja bakulu kyokka yakitegeera luvannyuma nti yasisinkana bantu bakyamu kubanga bye bakkaanyaako ate tewali ngeri gye yali asuubiura kubiraba mu mawulire.

Ekiwandiiko kye baafulumizza eggulo baagambye nti bennyamivu nnyo okulaba nga Bugingo yagenze mu maaso n’avuma mukyalawe Naluswa mu lujjudde, okumulengezza n’okumuswazaswaza ku nsonga ze basuubira nti buli musajja akakase mu maka, omukkiriza nga Bugingo era omukulembeze w’ekkanisa yandibadde n’emmizi ku nsonga ezikwata ku mukyalwe. Kino kikontana n’empisa, enjigiriza n’enkola y’ekkanisa.

Wiiki ewedde ku Lwokusatu, Bugingo yagenze mu kkanisa ye e Makerere - Kikoni n’asensula Naluswa nga bwe yamala emyaka 10 ng’amugulira ppamba buli lunaku olw’obulwadde bw’ekikulukuto bwe yalina.

Akatambi kaasasaanidde emikutu gya yintaneeti nga Bugingo ategeeza nti mu myaka gyonna 29 gy’amaze ne Naluswa mu bufumbo, teyasobola kutuukiriza nsonga z’abafumbo era tebeegatta mu mukwano mirundi gisukka 100.

Ebigambo byanyiizizza abantu era abakyala ne basalwo okwekalakaasa ku Mmande.

Abakazi baaguze ppamba ne basalwo okumuddiza Bugingo, ensonga baazitutte ne mu Palamenti ne beenyoola ne poliisi okubatangira okusuulira Bugingo ppamba.

Omusuubuzi Jane Werikhe Kazibwe yatutte ekiwandiiko eri akakiiko akaluhhamya emikutu gy’empuliziganya ng’ayala kawe ekiragiro ekiwera Bugingo okuddamu okwogera ku mukyalwe Naluswa kubanga takyalina kirungi kyonna ky’amwogerako.

Abakulira abalokole mu kiwandiiko kyabwe baategeezezza nti bakitegedde nga Bugingo akutte amakubo ag’amateeka ng’ayagala ayawukane ne mukyala we mu butongole asobole okuwasa omuwala omulala era ayimirira mu lujjudde n’akunga abantu abalala okutwala ekyokulabirako ekyo.

Kino baakitaddeko essira nga bakivumirira kubanga ng’abasumba era abakulembeze mu kkanisa babuulira enjiri ya bwesigwa na kusonyiwagana mu bufumbo.

Bawakanya enkola ya Bugingo n’okuvumirira enjigiriza yonna evvoola ekitiibwa ky’obufumbo, okuvumirira obwenzi n’obusiwuufu bw’empisa mu kiti kyonna ekirala.

Bugingo yasooka kuvaayo n’awakanya empeta abafumbo gye bambala ku ngalo nga bamaze okubagatta era eyiye yagiggyako mu lujjudde n’agikasuka ng’agamba nti empeta terina makulu. Teyakoma awo, waliwo bayibuli z’awakanya era n’agamba nti zisaana kwokya.

Abasumba mu kiwandiiko kyabwe baategeezezza nti bakoze ekisobola okuluhhamya Bugingo, okumusomesa n’okumuwabula kyokka bakizudde nga babadde bafuuyira ndiga mulele.

Baasazeewo okumweyawulako n’okumuboola ye ng’omuntu n’ebikolwabye n’enjiri gy’abuulira, gye baagambye nti ewubisa.

Baagambye nti ekkanisa ya Bugingo tebagimanyi era tebakyagitwala ng’ey’abalokole. N’ebikolwabye babyegaana okutuusa nga yeekubye mu kifuba ne yeenenya era bo bennyini ne bamulaba nti obulamu bwe abukozeemu enkyukakyuka ezikkirizika.

Bugingo yafuna omukazi omulala Susan Nantaba gwe yasalawo okuwasa n’amuzimbira n’ennyumba e Nakedde mu Ggombolola y’e Namayumba e Wakiso. Bugingo yaddukira mu kkooti ebagattulule ne Teddy, kyokka ye Teddy akiwakanya. Omusango gugenda mu maaso.

Ku nkomerero ya wiiki ewedde Omulabirizi wa Central Buganda Rt. Rev. Michael Lubowa yasinzidde ku kkanisa ya All Saints n’alabula abafumbo nti ssinga babeera bafunye obutakkaanya basooke balowooze ku makubo agabugonjoola nga tebannaba kutwala nsonga mu lujjudde.

N’alabula nti bw’owulira omuntu ng’atandise okwanika mukyawe mu lujjudde tandika okumusabira kubanga abeera aliko ekikyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Han1 220x290

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye...

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye ne bamussaako obukwakkulizo

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa