TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bugingo asekeredde abaamututte mu kakiiko ka UCC: 'Sirina muntu gwentya'

Bugingo asekeredde abaamututte mu kakiiko ka UCC: 'Sirina muntu gwentya'

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2019

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu gw’atya.

Pastorbugingo2703422350250 703x422

Paasita Bugingo

Yasekeredde abamututte mu kakiiko akaluhhamya ebiweerezebwa ku mpewo mu ggwanga (UCC).

Jane Werikhe Kazibwe yatutteyo ekiwandiiko ng’ayagala akakiiko kawe ekiragiro ekigaana Bugingo okuddamu okwogera ku mukyalawe Teddy Naluswa. Yagambye nti bano abasaasira.

Kubanga abantu ab’endowooza eyo tebajja kumulemesa kugenda mu maaso na kuwa ndowooza ye ku nsonga z’alaba nti asaanidde okuzoogerako kubanga by’ayogera abitegeera era abeera akimanyi nti ayogera kituufu nga tewali musango gw’azzizza.

Yakyukidde ekibiina kya The Bible Society of Uganda abaavaayo ne bamunenya olw’okuyuza empapula mu bayibuli n’agamba nti ke yazzeeyo n’asoma bayibuli ate kati kafulu mu kutaputa ebyawandiikibwa era mwetegefu okusomesa buli muntu anavaayo okuwakanya ebikyamu by’agenda aggyayo ebiri mu bayibuli ezitundibwa.

Agamba nti bayibuli nnyingi ezaakyusibwa okuzizza mu nnimu ennansi abaakikola baalekayo ennyiriri ez’amakulu eziyinza okuyambako okusomesa ekigambo kya Katonda ekituufu.

Wano kwe kulangirira nti ssinga Katonda anaamuwangaaza wakuleeta ekyuma ye addemu akyuse bayibuli eyiye mu Luganda era ateekemu ennyiriri zonna ezaasuulibwa ebbali abo abasooka okugikyusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agambibwa okuwoowa Kenzo ne Rema...

Sheikh ono okuvaayo kiddiridde Kenzo wiiki ewedde okutegeeza nga Muzaata bwe yamuvumidde obwereere n’amulangira...

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ekyama mu bakazi Haruna Mubiru b'awasa. Anoonya baana ba bagagga.