TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni mu kalulu ka 2021

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni mu kalulu ka 2021

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2019

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi, ehhoma, effumu n’engabo ne bamulagira atabaale ku lukalu ne ku mazzi mu kalulu ka 2021.

Sevo1 703x422

Pulezidenti (ataddeko enkoofiira) ng’abuuza Ssemakula Luttamaguzi. Okuva ku ddyo ye minisita Kasolo, Persis Namuganza, Anita Among, Nakiwala Kiyingi ne Hajji Abdul Nadduli

Baabadde ku kisaawe ky’e Ngoma mu disitulikiti y’e Nakaseke, Pulezidenti gye yakubye olukuhhaana lw’okwebaza abaayo n’abantu ba Buganda bonna olw’okumuwagira mu lutalo olwaleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza.

Yagambye nti abantu b’e Nakaseke ne Luweero mu lutalo baamuwa ente 20,000 abalwanyi ze baalya era ng’ajjukira nti omuntu eyasooka okumuwa ente baali bamuyita Bagarukayo eyamuwa ente eziwerera ddala 57.

Okumanya ng’abantu baamulaze okwagala baamukwasizza n’ente 32 ze baaleetedde ku loole ne bamugamba nti mu lutalo baamuwanga mu nkukutu, kwe kusalawo okumwongera endala nga waliwo kkamera.

 ulezidenti ataddeko enkoofiira nababaka ba alamenti kuva ku kkono ye imeo subuga argaret omuhangi illian akate oseph asozi arah ajjuma aruna asolo issy amuju uyanja babaali braham yandala umama samba ne udith abakooba Pulezidenti (ataddeko enkoofiira) n’ababaka ba alamenti. Okuva ku kkono ye; Simeo Nsubuga, Margaret Komuhangi, Lillian Nakate, Joseph Kasozi, Sarah Najjuma, Haruna Kasolo, Cissy Namuju, Muyanja Mbabaali, Abraham Byandala, Kumama Nsamba ne Judith Nabakooba.

 

Ssentebe wa disitulikiti y’e Nakaseke, Ignatius Koomu yasiimye Pulezidenti olwenkulaakulana gyabawadde mu kitundu ng’ebyuma ebikola enguudo n’ebirala.

Yamusabye okubafunira ekyuma ekirongoosa amata n’ekyuma ekikola kaawa ava mu mmwaanyi.

Yamusabye n’okusuumusa obubuga bwe Kapeeka ne Nakaseke bufuulibwe munisipaali kubanga gye yalwanira. Kino Museveni yakiwagidde n’abawa amagezi olukiiko lwa disitulikiti okutuula bakiyise mu bwangu kuba kigwanidde.

Museveni yeebazizza ab’e Nakaseke olw’okulonda NRM bulijjo, kyokka n’abanenya olwekwerumaaluma kw’aba NRM ekyabatuusa okusuula obululu mu nsiko bwe baalonda Luttamaguzi Ssemakula ku bubaka bwa palamenti.

 bantu nga baaniriza ulezidenti e akaseke Abantu nga baaniriza Pulezidenti e Nakaseke.

Abakulembeze abaakuh− haanye baavudde mu disititulikiti eziwera kkumi okwabadde; Nakaseke, Nakasongola, Mukono, Kayunga, Buikwe, Gomba, Butambala, Mpigi, Kyankwanzi ne Luweero.

Ababaka ba Buganda abaakulembeddwamu James Kakooza owa Kabula baaweze mu maaso ga Pulezidenti nti tebaakoma ku kyakuggya kkomo ku myaka gya pulezidenti, kyokka era bagenda kutambula naye mu Buganda yonna nga bakakasa abantu nti tebaakikola mu nsobi.

Abakulembeze okuva mu disitulikiti zonna 10 zaayisizza ekiteeso ekisemba Yoweri Museveni yeesimbewo ku lwa NRM mu kulonda kwa 2021 nga tavuganyiziddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600