TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusibe atolose ku baserikale abatuuze ne balya obuwuka!

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze ne balya obuwuka!

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2019

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi Nnamwandu n’abaana munaana lwa kukwata musibe gwe balumiriza okulumba mutuuze munnaabwe ng’ayagala okumutusaako obulabe kyokka n’atoloka ku baserikale mu ngeri gye bataategedde.

Leo 703x422

Nyinabagenzi n’abaana be ku poliisi e Maanyi.

Nga bakulembeddwaamu ssentebe wa LC 1, Muhammad Kakooza baategeezezza nti tebatasobola kukuuma mutuuze munnaabwe buli kiro olw’omuntu amuyiganya olw’enkaayana z’ettaka.

Clement Nyinabagenzi 35, nnamwandu wa John Balanyikwa ow’okubiri, eyattibwa omwaka oguwedde omulambo gwe ne gusuulibwa mu mbiriizi z’ennyumba ye.

Omu ku batabani b’omugenzi, Deo Kiggundu yakwatibwa poliisi naggulwako omusango gw’obutemu kyokka n’ateebwa olw’abatuuze ku kyalo obutawa poliisi bujulizi bumala.

Kiggundu ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde yalumbye muka kitaawe mu kiro n’ekigendererwa eky’okumutusaako obulabe kyokka Katonda nazza bibye.

Nyinabagenzi agamba, Nawawamuse ku ssaawa 9:00 ogw’ekiro ku Lwomukaaga okugabirira abalongo kwe kuwulira omuntu akwata ku ddirisa.

Wayise eddakiika ntono ne mpulira aggula oluggi. Okwetegereza nga Kigggundu.

Yabadde akwese omuko ogumu emabega, nantunuulira nga tanyega. Namubuzizza emirundi ebiri nti “Kiggundu onjagazaaki era oyiseewa?

 musibe iggundu Omusibe Kiggundu

 

Oyagala kunzita ku ssaawa zino? Tunuulira abaana bange abato” Wano wonna yabadde tanyega antunuulidde nkaliriza.

Ebyazeeko saabirinze ate nga ssimanyi kye yabadde akwatidde mabega. Naleekaanye nti “baana bange muzuukuke Kigundu wuuno,” bonna olwawawamuse Kiggundu ne yeemulula, n’afuluma era ssalabye kye yazze akwese. Nyinabagenzi ensonga yazitutte ku LC n’ayita olukiiko.

Ssentebe yasoose kutegeezaako poliisi y’e Maanyi Poliisi kyokka abaserikale ne bamusaba okubayambako okunoonya Kiggundu bamukwate olwo balyoke bagiyite.

Yagasseeko nti ekyalo kyakkirizza okunoonya Kiggundu n’akwatibwa ne bayita poliisi okumunona.

Abaserikale abazze okunona omusibe baabadde babiri, omu avunaanyizibwa ku kukunoonyereza ku buzzi bw’emisango n’omulala eyabadde akutte emmundu era omusibe baamutuzizza mu makati gaabwe ku pikipiki ya poliisi. Baavuzeeko katono omusibe n’ava ku pikipiki n’adduka.

Ssentebe yayise olukiiko olulala nnamwandu n’ayongera okwekubira enduulu eri ekyalo okumukuuma n’okumusondera emmere y’abaana, kubanga Kiggundu emmere ye agibba n’agitunda.

Omwogezi wa poliisi y’e Wamala, Nobert Ochom yakkirizza nti kituufu omusibe yadduse Ku baserikale kyokka poliisi emunoonya addemu akwatibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600