TOP

‘Abaami mmwe mutabangula amaka’

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2019

ABAKULEMBEZE n’abatuuze mu tawuni kanso y’e Luuka boolese obwennyamivu olw’omuwendo gw’amaka agasasika okweyongera ng’obuzibu busibuka ku baami.

Soma 703x422

Omu ku bakyala ng’annyonnyola ensonga ze

Abakyala baloopedde bannamateeka ab’ekitongole kya Paralegal Advisory Services ng’abaami baabwe bwe basusse okubatulugunya nga babakuba emiggo. Nti era beefuula bannantagambwako, nga n’abasinga ku bo baasuulawo obuvunaanyizibwa bw’okulabirira amaka gaabwe ne badda mu kunywa omwenge.

Bino byabadde ku ssomero lya Kitwekyambogo Primary School erisangibwa mu disitulikiti y’e Luuka mu Busoga, awaategekeddwa omusomo gw’ensonga z’amaka, n’engeri gye balina okukuzaamu abaana baabwe bafune ebiseera by’omumaaso ebitangaavu. Bano era baayongeddeko nti, ettamiiro n’obwenzi biwaliriza abamu okukola ebikolwa eby’ekko ng’okulwanagana, okuttihhana.

“Embeera gye tuyisibwamu abaami baffe y’etuwaliriza okuva mu maka nga tetweyagalidde. Bannaffe baliira ku nsiko n’abamu bali mu makomera lwa nneeyisa ya babbaabwe embi ebawaliriza okubakola ebikyamu.

Amaka agasinga obungi ku kyalo kino temuli kuteesa ekyoleka ekifaananyi ekibi eri abaana baffe,” Abakyala bwe baagambye. Bano era baalumirizza abeebyokwerinda nti, nabo balina omukono mu ntalo eziri mu maka gaabwe olw’okulemererwa okukangavvula abaami baabwe nga babatwalidde emisango gye baba bazzizza.

Bo abaami mu kwewozaako baategeezezza bannamateka nti abakyala baabwe baava dda ku nnono z’obuwangwa bwabwe ne badda mu kubayisaamu amaaso ng’okubavuma ekibaggya mu mbeera ne babakuba n’ekigendererwa eky’okubatereeza wabula si kubalumya.

“Ekisinga okubakubya kwe kusuulirira obuvunaanyizibwa obwabaleeta mu bufumbo ne batumma omukwano ekitulowoozesa nti, babeera n’abasajja abalala, naffe ne tuwalirizibwa okufuna abakyala ebbali nga tetweyagalidde.

Ssinga bakyusa naffe tujja kwetereeza.”Abaami bwe baategeezezza. Ssentebe w’ekyalo kino, Albert Mulyaze yagambye nti amaka mangi ku kyalo kye temuli nkolagana era nti buli wiiki afunayo emisango egyekuusa ku nsonga z’amaka ng’esatu era abamu bawunzika baawukanye.

“Twetaagayo emisomo egy’enjawulo egiyigiriza ku nsonga z’amaka lwe tuyinza okumalawo obuzibu buno.” Mulyaze bwe yagambye.

Munnamateeka Elly Kasirye yakuutidde abafumbo okukomya okulwanagana kubanga kitaataaganya eby’ensoma y’abaana yaabwe.

Ono era yasabye abaami okuteekawo enkolagana ennungi wakati waabwe n’abakyala kibasobozese okukuza abaana baabwe n’okubayigiriza bye beetaaga okumanya nga bali wamu ng’abazadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...

Simba 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi