TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu ekibonerezo ku looya Kintu Nteza

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu ekibonerezo ku looya Kintu Nteza

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2019

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri ekyali kiweereddwa munnamateeka Felix Kintu Nteza owa Kintu Nteza & Co. Advocates obutaddamu kuwoza musango gwonna.

Teekawo1 703x422

Felix Kintu Nteza owa Kintu Nteza & Co. Advocates

Bino bya badde mu kkooti ekwasisa bannamateeka empisa ku Goergina House mu Kampala ng’eno yakubiriziddwa ssentebe w'akakiiko kano Bruce. K. Kyerere.

Ssentebe bwe yabadde awa ensala ye yategeezezza ng’akakiiko bwe kaali katawulirizza kwewozaako kwa Nteza nga kino kyaggye Ddumba n'abantu mu mbeera nga bagamba nti si bamativu ne nsalawo y'akakiiko.

Akakiiko okuwa ensala yaako kiddiridde Nteza okujulira ng’awakanya engeri akakiiko gye kaasalawo okumuyimiriza nga tategeezeddwa yadde okuweebwa omukisa okwewozaako mu musango ogwamuwawaabirwa Hajji Abdul Ddumba ogw’okuzimba ku ttaka ly'agamba nti lirye.

Mu March w’omwaka guno, Ddumba yaddukira mu kakiiko kano ne yeekubira enduula ng’alumiriza Nteza okuzimba kalina ku ttaka lye erisangibwa e Bunnamwaya ku bbulooko 265.

Wabula bino Nteeza yabijungulula n'ateegeza ng’akakiiko bwe kataamuwa mukisa kwewozaako Ddumba n'atuuka n'okukakozesa okumwononera erinnya ng’ayita mu kupanga abajulizi be yaleeta mu kakiiko n'okumwesibako nti yali munnamateeka we.

Nteza yasiimye akakiiko olw'okulaba amazima era ne kamwejjeereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600