TOP

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2019

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe bumu

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 703x422

Abayizi nga baliko ensonga ze bategeeza Omubaka eyakiikiridde sipiika Kadaga

Bya Joanita Nakatte

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye abazadde okuwa abaana baabwe omukisa okuddamu okusoma amangu ddala nga baakamaliriza okuzaala kibasoboze okuzimba obulamu bwabwe ku lw’ebiseera byabwe eby’omu maaso ebitangaavu.

Mu bubaka obwamusomeddwa, Steven Kisa ow’obugwanjuba bwa disitulikiti y’e Luuka mu Busoga yaweerezza abazadde obubaka buno mu lukung’aana olwabadde lutegekeddwa ku ssomero lya Kitwekyambogo Primary School olwetabiddwamu abazadde, abasomesa n’abaana b’agamu ku masomero agasangibwa mu disitulikiti eno.

 baana abawala nga boogera ku nsonga ezibakaluubiriza okusoma Abaana abawala nga boogera ku nsonga ezibakaluubiriza okusoma

 

Bano baabadde beegattiddwako ne bannamateeka b’ekitongole ekya Paralegal Services abaasomesezza abazadde n’abasomesa okwewala okutulugunya n’okukola ebyo ebirinnyirira eddembe ly’abaana baabwe nga bye bivaako oluusi okusoma obubi n’okuva mu ssomero.

Kadaga yateegeezezza nti, eky’okuwa abawala omukisa omulala kyandibayamba okumanya obwetaavu bw’okusoma osanga n’okuyamba ku bannaabwe nga bababuulira akabi akali mu kufuna embuto nga tebannamaliriza misomo gyabwe.

“Nzikiriza nti, omwana ng’oyo abeera afunye essomo ery’amaanyi okusinziira kw’ebyo ebyamutuukako era afuuka ow’obuvunaanyizibwa. Mbasaba obutaggwaamu ssuubi era tukolaganire wamu okubayamba tubazzeeyo ku ssomero kubanga n’abamu bazifuna tebeeyagalidde,” Kadaga bwe yategeezezza.

 bamu ku bazadde abaabadde mu lukungaana Abamu ku bazadde abaabadde mu lukung'aana

 

Yasabye abakulembeze ku kyalo kino okuteekawo amateeka agawaliriza abazadde okwerekereza byonna baweerere abaana baabwe n’okukangavvula abagufudde omugano okufunyisa abawala embuto naddala ababasomesa kyokka ne babaddusa ku byalo oluvannyuma lw’okuwa abazadde ensimbi.

Abamu ku bazadde baaloopedde bannamateeka olw’abakulira amasomero okubasabanga emmere y’abaana ey’okumukumu kyokka ne bagibawaako nga ttaamu yaakatandika olwo esigadde ne bagitunda.

“Buvunaanyizibwa bwaffe ng’abazadde okusobozesa abaana baffe okusoma obulungi naddala ssinga babeera bakuffu, naye engeri abakulu b’amasomero gye batusaba emmere emirundi egy’omuddiring’anwa beetaaga okukyusaamu kubanga oluusi tetubeera na ssente,” abazadde bwe baategeezezza.

 mubaka teven isa ngayogera eri abazadde Omubaka Steven Kisa ng'ayogera eri abazadde

 

Omubaka Steven Kisa, yakuutidde abazadde n’abasomesa okutonera abaana baabwe ebirabo naddala ababeera bayise obulungi ng’ekkubo ery’okubaagazisa okusoma n’okusigala mu ssomero.     

Yennyamidde olw’abeebyokwerinda ba disitulikiti eno okusabanga abantu ensimbi nga tebannakola ku misango gyabwe kye yagambye nti kino kyandyongera ku muwendo gw’obumenyi bw’amateeka. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kalendeweds1 220x290

Obunkenke e Namirembe nga Reverand...

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev....

Saba 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Nakalembe1 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Sebulime1 220x290

Famire ya Ssebulime ekukkuluma...

FAMIRE y’omugenzi Ronald Ssebulime eyakubwa poliisi amasasi ng’ateeberezebwa okuba mu lukwe lw’okwagala okutta...

War1 220x290

Tekinologiya wa Iran asannyalazza...

TRUMP yabadde takisuubira nti Iran erina tekinologiya asobola okusannyalaza ennyonyi za America! Kyamukubye wala...