TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza ebyuma bya situdiyo abayimbi ba kuno bafulumye ennyimba ezivuganya ez’ebweru

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza ebyuma bya situdiyo abayimbi ba kuno bafulumye ennyimba ezivuganya ez’ebweru

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2019

OMUYIMBI Bebe Cool aleese amaanyi!, Nga yaakamala okutuusa kapyata ekika kya Land Cruiser V.* ZX Model 2019 gy’agamba nti egenda kumalawo obukadde 600 ng’emisoso gyonna giwedde, ate kati aleese ebyuma bya situdiyo okukwata ennyimba ne vidiyo.

Anita 703x422

Bebe agamba nti ebyuma bigenda okukola situdiyo ekwata ennyimba ne vidiyo nga y’esinga mu buvanjuba bwa Afrika nga byamazeewo emitwalo gya doola 45.

“Situdiyo eno nagikoze okuyamba ku bayimbi Bannayuganda abanene n’abakyali abato okukola ennyimba ezituukagana n’omutindo gw’ensi yonna kisobozese Bannayuganda okuvuganya n’abayimbi b’omu Nigeria, South Africa, Jamaica, Amerika n’abalala,’’ bwe yagambye. Agamba nti amaze emyaka 25, ng’ateeka ssente mu myuziki abamu ku Bannayuganda kye baasooka okulowooza nti alya ndye.

Bebe Cool agamba nti okukola ennyo n’obwesigwa bw’alina eri abawagizi be omuli ne Pulezidenti Yoweri Museveni n’abagagga b’omu Kampala okuli Godfrey Kirumira, Hamis Kiggundu (Ham) n’abalala bye bimuyambye okutuuka waali.

 

“Bw’obeera omugezi era omukozi mu kiseera kino ekya Pulezidenti Museveni ku mbeera ennungi gye yateekawo mu ggwanga, kyangu nnyo okugaggawala. Nze ly’ekkubo lye nakwata. Kati ebibuuzo nti Bebe Cool ssente zaakola aziteeka wa tebikyalina makulu.

Omuyimbi yenna okulinnya waggulu alina okuteeka ssente mu myuziki n’ayingira emitima gy’abantu era ye nsonga lwaki nze buli muntu n’eyandipalanye amaliriza awuliriza oba alaba omuziki gwe nkuba,’’ bwe yagambye.

Mu December w’omwaka oguwedde Bebe yayingira ennyumba ye kw’agenda okuteeka abapangisa ng’amalirirzza amaka ge agali e Kiwatule.

Emmotoka ya Land Cruiser agigasse ku Hummer eriko “BIG SIZE”, Mercedes Benz CLS 350 n’endala.

Bebe Cool aleese amaanyi Agamba nti Pulezidenti Museveni awagidde nnyo abayimbi era okumubeera ku lusegere takyejjusa.

Ng’ayogera ku bavubuka yabagambye nti balina okumanya nti ebirungi bye beegomba balina kusooka kubikolerera n’okwettanira ennyo polojekiti za gavumenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.