TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita Serebe aleppuka na bbanja lya bukadde 10

Paasita Serebe aleppuka na bbanja lya bukadde 10

By Henry Nsubuga

Added 19th July 2019

OMUSUMBA w’Abalokole Bp. Stuart Serebe owa Christian Heritage Church esangibwa e Mbuya yattulukuse entuuyo nga bwe zikala oluvannyuma lwa bawannyondo ba kkooti ne poliisi okumukwatira mu maka ge.

Linda 703x422

Serebe ku mpingu.

Bp. Serebe yakwatiddwa okuva ewuwe ku kyalo Upper Nabuti mu Mukono ku Lwokubiri ku makya ng’entabwe eva ku bbanja lye yalya mu 2011 eriweza obukadde 10,300,000/-.

Ono ku poliisi e Mukono yamazeeyo ebbanga ddene ng’asaba bamuweemu akadde atetenkanye asasule naye ne kitasoboka era oluvannyuma yateekeddwa ku mpingu n’ayolekera e Bugiri ewali omulamuzi eyamuyisaako ekibaluwa ki bakuntumye kwe baasinzidde okumukwata.

Serebe yakwatiddwa bawannyondo ba kkooti abaakulembeddwa Bernard Barasa Odiemo owa Mwoto Mwoto General Auctioneers and Court Bailiffs.

Okusinziira ku kiwandiiko kya kkooti ekyaweebwa okuva eri omulamuzi wa kkooti ow’eddaala erisooka mu disitulikiti y’e Bugiri kiraga nti, Bp. Serebe yalyazaamaanya ensimbi za Joseph Ngobi obukadde 10,300,000 nga zaali za ssomero lya Citizens High School erisangibwa ku kyalo Nansaga mu ggombolola y’e Bulida mu disitulikiti y’e Bugiri lye yagula n’asasulako ekitundu.

Ngobi agamba nti yaguza Serebe essomero lino ne bakola endagaano nga August 15, 2011 ng’alimuguzizza 15,000,000/- nga yali waakuzisasula mu bitundu.

Kyokka Ngobi agamba nti bwe baamala okukola endagaano Serebe n’amwefuulira.

Baali bakkaanya nti ekitundu ekyasigalayo akisasule obutasukka December w’omwaka 2012 kyokka ono yeerema n’okutuuka olwaleero nga tamusasulangako wadde ekikumi ekyamuwaliriza okugenda mu mateeka kuba bwe yateeka ensonga ze mu basumba b’abalokole ab’enjawulo, okuli n’akulira enzikiriza z’Abalokole, Omutume Alex Mitala, bano bonna baalemwa okwogereza Serebe asasule ebbanja.

Serebe okuva mu maka ge yagudde ku mavi ne yeegayirira baleme kumutwalira ku kabangali ya poliisi n’asaba wannyondo wa kkooti, Barasa amuvugire mw’emu ku mmotoka ze naye kye yakoze.

Ku ssaawa nga 8:30 ensimbi Serebe zaamubuze n’ateekebwa ku mpingu okuva mu mmotoka ye mwe yamaze ebbanga ne bamuteeka mu ndala okwolekera olw’e Bugiri agasimbagane n’omulamuzi.

Wabula kigambibwa nti nga bali mu lugendo wakati nga batuuse mu Mabira, Serebe yatandise okukulukusa amaziga, okweziribanga n’okwegayirira asonyiyibwe aleme kutwalibwa mu kkooti n’asaba omukisa waakiri bamuyambe asasuleko ekitundu ku nsimbi ezo.

Ngobi yategeezezza Bukedde nti baamututte e Jinja ku woofiisi za balooya n’akola akakalu oluvannyuma lw’okusasulako obukadde 6 ng’ezisigaddeyo agenda kuba azisasula mu bbanga lya nnaku 15 zokka.

Kaweefube wa Bukedde okwogerako ne Bp. Serebe ku nsonga zino yagudde butaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600