TOP

Bugingo bamuyise ku poliisi ne bamukunya

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2019

PAASITA Aloysius Bugingo avudde ku poliisi ya CPS mu Kampala nga bimusobedde olw’obukwakkulizo poliisi bwe yamutaddeko omuli n’okumulabula bw’atakomya kwogera bintu bisasamaza bantu ekkanisa ye bwe bandigiggala olw’okuteeka ebyokwerinda by’ekibuga ku bunkenke.

Bugingo 703x422

Kafeero ne Bugingo

Bugingo yeeyanjudde ku CPS mu ofiisi y’omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Moses Kafeero Kabugo ku Lwokubiri akawungeezi.

Kigambibwa nti, Bugingo bwe yabadde tannatuuka ku CPS, waasooseewo akafubo mu ofiisi ya Kafeero akaabaddemu omuduumizi w’ebikwekweto by’amagye mu Kampala, Maj. Gen. Samuel Kawagga n’omuduumizi wa Miritale, Brig. William Bainomugisha.

Ensonda ku CPS zaategeezezza nti, Bugingo yatuuse ku CPS wakati w’essaawa 12:00 ne 1:00 ey’akawungeezi.

Yabadde awerekeddwaako abasumba abakulu mu kkanisa ye ne bannamateeka be ne bagenda butereevu mu ofiisi ya Kafeero eyamuyise okubaako byannyonnyola ku mbeera eyabadde mu kibuga ku Mmande ng’abakazi beegugunga.

Kafeero yalabudde Bugingo obutaddamu kwogera bigambo bisasamaza bakazi ebiyinza okuvaako ebyokwerinda by’ekibuga okubeera ku bunkenke.

Ono yamubuulidde engeri ekibuga gye kibadde kikkakkanyeemu nga temukyalimu bujagalalo bwonna na kwegugunga n’amugamba nti, tebaagala bujagalalo kudda mu Kampala nga busibuka mu kkanisa ye.

Yamuwadde amagezi ensonga ze ne mukyala we Teddy Naluswa Bugingo gattako muwala we Doreen Gift Bugingo okuzikwata mu ngeri ya kisajja kikulu.

Yagambye nti, ensonga za famire tezisaana kwanika mu lujjudde n’amulabula obutaddamu kwogera kintu kyonna ku famire ye ng’ali ku katuuti mu kkanisa ye eya House of Prayer Ministries International e Makerere.

Ensonda ku CPS zaategeezezza nti, bakira Kafeero annyonnyola nga Bugingo awuliriza bw’awuuna olwamaze ne yeetonda olw’embeera eyabaddewo ku Mmande egambibwa nti, yavudde ku bigambo bye yayogera ng’alumba mukazi we nti yalina ekikulukuto okumala emyaka 10.

Kyategeezeddwa nti, Bugingo yagambye Kafeero nti, teyagenderera kuvvoola Teddy era bye yayogera yali tamuvvoola kubanga biri mu bujulizi Teddy kennyini bwe yeewaako mu kkanisa ng’abantu bonna bawulira kyokka n’asuubiza okugondera ebiragiro ebyamuweereddwa poliisi.

Bugingo yamaze akaseera akawerako mu ofiisi ya Kafeero ng’amameeme gamukuba kyokka oluvannyuma, Kafeero yamutegeezezza nti teyabadde mukwate era yabadde amuyise kubaako bye bakkaanyako.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, Bugingo kituufu yeeyanjula nga bwe yali ayitiddwa ku Lwokubiri n’asisinkana Kafeero eyali amuyise n’amulabula okukomya okwogera ebintu ebitanula abakazi okwegugunga n’okuggya ensonga za famire ye mu lujjudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Han1 220x290

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye...

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye ne bamussaako obukwakkulizo

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa