TOP

Abantu 15,000 basuliridde kusengulwa e Njeru

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2019

ABATUUZE basoba mu 15,000, abali ku ttaka eririko enkaayana mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe emitima gikyabeewanise oluvannyuma lw’abantu babiri okuvaayo ne babategeeza ng’ettaka kwe bali bwe liri eryabwe.

Funayo 703x422

Abamu ku batuuze Mpiima (ku kkono) Muyingo (wakati) ne Kasigwa (ku ddyo) nga bagenda ku kitebe kya munisipaali y’e Njeru okusisinkana abakulembeze.

Ettaka lino liri ku byalo mwenda okuli: Naava Zone, Naava Road, Lower Naava, Upper Naava, Naminya North ne South, Triangle, Mukwanya ne Model farm. Abatuuze baddukidde wa Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga abayambe.

Ettaka lino liriko amakolero ag’enjawulo n’ebitongole bya Gavumenti ng’ekitebe kya Njeru munisipali, ekitebe kya poliisi ne kkooti y’e Njeru, amasinzizo n’amasomero.

Nga April 26, 2019 Town Clerk w’e Njeru, Ambrose Ochen yafuna ekiwandiiko nga kiva mu bannamateeka ba Tuhimbise and Co. Advocates nga kimutegeeza ng’abantu babiri okuli: Agnes Zawedde Naava ne Margret Mary Nassuuna abazzukulu b’omugenzi Mere Yuniya Kamuwanda Lubuga ng’ono yaliko Nnaalinya mu Buganda nga bategeeza kkanso ‘ye Njeru nti ettaka eriri ku Block 542, Plot 1 Kanso kw’etudde n’ebyalo omwenda bwe liri eryabwe era ekiwandiiko nga kikugira kkanso okuddamu okutunda ettaka lyonna erir ku Block eno.

Ekiwandiiko kyalagira kanso okusasula Naava ne Nassuuna ensimbi zonna ze yatunda ng’eguza abantu ab’enjawulo ettaka lino n’okulyamuka mu nnaku musanvu zokka. Okuva kw’olowo abantu ab’enjawulo abaggula ettaka lino.

Abatuuze nga bakulembeddwaamu eyaliko omubaka omukyala ow’e Buikwe Dorothy Mpiima baawandiikira Town Clerk, Ocheni nga baagala abannyonnyole ababiri bano gye bavude n’ebigendererwa byabwe. Ohen yabagumya nga bwe batagenda kusengulwa.

Dominic Muyingo omutuuze ku kyalo Triangle yategeezezza nga bwe yagula ewuwe mu myaka gy’ensanvu wabula n’ategeeza nga bwe batayinza kulinda kkanso y’e Njeru kubalwanirira era kwe kusalawo okugenda ewa Kadaga.

ABAPUNTA BATANDIISE

Wiiki emu emabega abatuuze ku kyalo Mukwanya baakwata Catherine Ndagire eyali atandise okupunta ettaka lino ne bamukwasa poliisi. Yategeeza nti yali apunta ttaka lya Naava ne Nassuuna.

PULEZIDENTI ABIYINGIDDEMU

Pulezidenti Museveni bwe yali e Jinja mu nsisikano n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo nga July 10, 2019 yategeeza ng’ensonga z’ettaka lino bwe zaali zaatuuka mu ofiisi ye era n’ategeeza nga bwe yali agenda okuweereza omuntu yekkaanye ensonga zino era ne yeewerera abalamuzi abanaagezaako okulya enguzi ku nsonga zettaka lino, n’abanaakwata emisango

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.