TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata vidiyo kata bafe emisito g'ennyama

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata vidiyo kata bafe emisito g'ennyama

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2019

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa n’ebyokunywa bonna nga bagamba kimu nti taata weebale kugabula.

Bala3 703x422

Bano babadde ku situdiyo za Jah Live ezisangibwa ku Salama Road ng'omukwasi wa vidiyo amanyiddwa nga Frank Jah ali mukukwata vidiyo y’oluyimba lwe luno olwa “Ndyeno Olyeyo”olwakoleddwa Daddy Andre.

alt=''

Vidiyo eno baagitaddemu esswaga nga baasose kugabula kimere bonna abaabaddewo wamma ggwe we baatuukidde ku kinyusi nga buli omu tatoma nga amaanyi mangi ng'enjogera y'ennaku zino.

Okukwata vidiyo kwatandise ssawa 2 ez’ekiro nekukomekereza ssawa 8 ogw’ekiro wabula nga buli aliwo tatoma akanya kwebaza Prince Omar.

 

Oluvannyuma lw'okukwata vidiyo baasaze embuzi ne balya nga kwebatadde n’okunywa.

Oluyimba luno lwe yakoze lwa mukwano era nga lulaga omuntu ayagala munne wabula nga gw'ayagala ali bunaayira tasobola kumufuna .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.