TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera

By Musasi wa Bukedde

Added 20th July 2019

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera

Lap2 703x422

Mugisha ng’ali n’owapoliisi.

JOHN Bosco Mugisha agambibwa okutta omuvuzi wa bodaboda yategeezezza poliisi nti alina omugagga gwakolera nti ne bwe banaamusiba alina obwesige mu mukamawe okumuggya mu kkomera. Mugisha abasinga gwe bayita Mukiga poliisi yamututte mu bifo ebiwerako gy’azze attira abavuzi ba bodaboda ng’ali ne banne.

Kyokka kyababuseeko bwe yabakudaalidde nti; “ne bwe munansiba mumala biseera kuba omugagga wange ajja kunzigyayo”. Mugisha yannyonnyodde nti waliwo omusuubuzi wa sipeeya wa pikipiki gwe yayogeddeko erinnya erimu erya Robert ng’ono yakolagana n’omugagga mu bitundu bya Arua gwe bakolera era nga buli lwe bagwa mu buzibu, y’abaggya mu kkomera.

Poliisi yagezezzaako okukwata Robert agambibwa okubeera omutuuze w’e Bulenga kyokka webatuukiddeyo omuntu ono yabadde yeemuludde ng’adduse nga na buli kati bakyamunoonya. Poliisi era eri mu kunoonyereza ku mugagga ayogerwako ow’omu Arua agambibwa nti ono pikipiki empya azitunda mu mawanga nga Congo ne Sudan.

Ku Lwokuna nga poliisi ekulembeddwaamu akulira okunoonyereza ku misango mu kitundu kya Kampala South, Vincent Okurut, Mugisha yagitutte mu bitundu by’e Makindye gy’agamba nti gye bazze battira abavuzi ba bodaboda abawerako n’oluvannyuma ne batwala pikipiki zaabwe. Yasoose kubatwala emabega w’ekikomera ky’ebbaala ya Makindye Country awali oluguudo oluyita mu bikomera.

Oluguudo luno lwe lugenda e Makindye mu Kizungu. Mugisha yalaze engeri gye battamu omusajja nga bakozesa ebissi bye baali baakwese edda ku mabbali g’oluguudo.

Bwe baavuddeyo ne boolekera e Makindye mu Madirisa Zooni era n’abalaga engeri gye yattamu omuvuzi wa bodaboda omulala nga waliwo olukuubo olukkirira okutuka ku Salaama Road. Poliisi bwe yamubuuzizza lwaki battira abavuzi ba bodaboda okumpi n’ebikomera by’abantu, Mugisha yabaanukudde nti mu bifo by’ekika ekyo omuvuzi wa bodaboda aba tasuubira kumukuba nnyondo.

Basooka kumunyoola bulago nga bw’agezaako okwerwanako nga bamukuba ennyondo ku mutwe era okuvaawo bamala kukakasa nti afiiridde ddala olwo ne balyokka batwala pikipiki.

Yabuulidde abaserikale nti mu kitundu ky’e Makindye baabadde bakakubirayo abagoba ba bodaboda bana ennyondo ne babatwalako pikipiki zaabwe ate ng’abalala babakubidde mu bitundu by’e Lubaga ne Mityana.

Yagambye nti abantu bonna be babadde bakuba babadde babakuba enyondo bbiri ku mutwe ne basirika wabula Derrick Mulindwa gwe bakubira e Kakeeka Mengo baamukuba ezisingawo kubanga yagezaako okubalwanyisa ekyamuvirako okumukuba okutuusa lw’eyafa.

Mugisha era yabuulidde abaserikale nti buli pikipiki gye babadde babba oluvannyuma lw’okutta nnyiniyo babadde babawa 300,000/-, wabula n’agamba nti si mwetegefu kwogera omugagga w’omu Arua abatuma kubang

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...