TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

By Benjamin Ssebaggala

Added 20th July 2019

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Sev2 703x422

Abakulembeze b’abakyala mu Kampala ne Wakiso nga bakwasa Pulezidenti Museveni effumu. Ku kkono ye Sheikh Guggwa, eyamusabidde.

PULEZIDENTI Museveni alabudde Katikkiro Charles Peter Mayiga akomye okusaasaanya obulimba ku bbago ly’etteeka ly’emmwaanyi nti Gavumenti etegeka kuwa balimi layisinsi ataagifune agobwe ku kuzirima. “Katikkiro ayogera byabulimba. Nnamuweerezza obubaka akomye okulimba,” bwe yategeezezza ng’ayogera eri eggwanga ku Lwokuna akawungeezi.

Museveni bwe yamalirizza okwogera ng’agenda, yakyuse n’akomawo ku muzindaalo n’ategeeza nti yawulidde Mayiga ng’ayogera ku by’emmwaanyi. “Yabadde alimba era nnaweerezza dda obubaka eri abasobola okumugambako akomye okusaasaanya obulimba.” Yannyonnyodde nti okutandika okulima emmwaanyi tekyetaagisa kufuna layisinsi wabula okuwandiisa abalimi babamanye kubanga bwe batuuka gye bazitunda, abagula baagala okulondoola okumanya emmwaanyi gye ziva bwe kitakolebwa babeera tebajja kugula mmwaanyi zaabwe.

Kuno kubeera kwewandiisa nga bwe kiri mu mirimu emirala. Yawadde ekyokulabirako nti Abanyankole abalunda ente ensagala balina ekibiina ekibagatta ekya Ankole Cattle Breeders Association ye nga Museveni baamuwandiika era mmemba.

Abavubi beewandiisa ne babamanya. “Oyo eyabadde agamba nti beewandiisa kubawa layisinsi bulimba bwennyini,” Museveni bwe yaggumizza. Mayiga bwe yabadde ku mukolo gw’okutuuza Omusumba omuggya ow’e Masaka yategeezezza nga bwe yakitegeddeko nga waliwo etteeka erijja okuwandiisa n’okuwa layisinsi abalimi b’emmwaanyi. Kino akiwakanya kubanga kijja kuterebula abalimi b’emmwaanyi.

Kyokka bwe yabadde mu lukiiko lwa Buganda ku Mmande, yakiggumizza nti enkola y’okuwandiika abalimi bonna ejja kumalamu amaanyi abalimi abasookerwako.

Ayagala okwagaza abantu okulima emmwaanyi nga bakikola kyeyagalire awatali kubassaako mateeka. Museveni yayogedde ku nsonga ezenjawulo okuli ebyenfuna, ebyokwerinda, obutebenkevu mu ggwanga, bannannyini ttaka abagobaganya abantu, abazimba mu ntobazzi n’okutangaaza ku tteeka mwe bavunaanira abantu be bagamba nti banyiiza pulezidenti.

Yalabudde nti ye nga Museveni tewali amunyiiza wabula etteeka mwe basinziira okuvunaana abantu liruddewo lyaleetebwa bafuzi b’amatwale erisaana okukyusibwa. Yannyonnyodde nti ekikulu abaserikale abakwata abantu bano basaana okukyusaamu essira baliteeke ku bulimba, okusiga obukyayi n’okuwaayiriza abantu bano bye basaasaanya ku mikutu.

OBUMENYI BW’AMATEEKA N’OBUBBI BW’EBISOLO Ku bubbi bw’ebisolo naddala mu byalo yagambye nti eyo nsonga nkulu esaana okussaako essira kikome naye kirabika kivudde ku bulagajjavu bwa poliisi. Gavumenti ezze esala amagezi okulwanyisa obubbi n’eteekawo amakubo nga kkamera n’okuteekayo abaserikale abakuuma ebyalo.

Yagambye nti ssinga ababbi babeera bavudde wala nga bagenda kukozesa mmotoka oba pikipiki, ku nguudo kwe bayita gavumenti etaddeko kkamera ezisobola okukwata ebifaananyi ne balondoolwa. “Bwe babeera nga babbi ba mu kitundu abatambuza ebigere, abo embwa za poliisi zisobola okubalondoola ne tubakwata.

Nze baagezaako okubba ente zange e Kisozi nga bagamba nti Museveni alina ente nnyingi katubbeko eza Kulisimaasi naye nnabakwata. Abavubuka abaatuga munnaabwe eyali ku bodaboda ne balowooza nti badduse poliisi yabalondodde n’ebakwata.

Omu twamukutte kyokka omulala gwe yali naye, baamuttidde mu bubbi obulala. Okubakwata kyasobose lwa kkamera ze twateekawo. Mbakakasa nti obutebenkevu bwe twateekawo mu ggwanga bwakugenda mu maaso era tewali agenda kubutabangula.” Yagambye nti mu kibuga mukyalimu obumenyi bw’amateeka ng’ettemu ly’okutta abakyala, obubbi n’ebirala. Bino gavumenti ebirabye n’eyongera amaanyi mu byokwerinda nga teyeesigama ku bantu bokka wabula etaddewo kkamera era ereeta n’ebyuma ebirala eby’omulembe. Gavumenti egenda kuteekawo obuuma obulondoola emmotoka ne pikipiki nga basobola okugirondoola okumanya wa weeri.

ETTEEKA ERIRUNG’AMYA ABAPANGISA NE BANNANNYINI BIZIMBE

Bwe yabuuziddwa ku kuteeka omukono ku tteeka erirambika bannannyini bizimbe n’abapangisa yategeezezza nti akyalyetegereza kubanga lirimu ensonga nnyingi okuli okugaana bannannyini bizimbe okusasuza abapangisa mu ddoola.

OKUYAMBA ABAVUBUKA N’OKUBAWA SSENTE Yalambuludde enteekateeka gy’abaddeko mu biseera ebiyise mw’alambulidde abavubuka mu Kampala okuli abookya ebyuma, ababazzi, bamakanika, abalina saluuni ezisiba n’okukola enviiri.

Enteekateeka eno egenda kusaasaanira eggwanga lyonna kubanga ssente weeziri era okusinziira ku kwetegereza kw’akoze akizudde ng’emirimu egyengeri eno giri 16 okuli abavuga bodaboda, abakyala banneekoleragyange, saluuni, takisi, abalina ebirabo by’emmere, abakulembeze b’abavubuka, abalina obulemu, abagula n’okutunda ebirime, abatunga ebyalaani, bamakanika, abakola ku mikutu gy’amawulire bonna abalowozaako.

Yagambye nti ye omuntu bw’abeera talunda nga talima tamujjukira mangu kyokka baamutegeezezza nti abAamawulire gye bali, abayimbi ne bannakatemba, abavubi bonna abagwa mu biti by’amenye waakuteekayo SACCO ku buli disitulikiti omuntu agwa mu biti ebyo afune ssente.

Eby’okugamba nti omuntu talina ntandikwa bikomye era waakuteerawo n’abakulembeze SACCO eyaabwe kubanga mu nteekateeka ya Bonnabagaggawale abakulembe bwe bagenze okufuna ku ssente ng’abantu beebuuza nti ate nammwe muzze?

UGANDA W’ETUUSE l Abalambuzi balinnye buli mwaka tufuna 1,400,000 kyokka ensi nga Spain efuna abalambuzi obukadde 30 nga tewali nnyo kye bagenda kulambula. l Yategeezezza nti Uganda erina okwongeramu amaanyi okusikiriza abalambuzi okujja mu Uganda. l Uganda efubye okukuuma obutebenkevu okulaba nti enyweza ebyokwerinda abalambzi basobole okugyeyuna.

l Engeri Uganda gy’etaddewo emikutu egituyunga ku yintanenti kati tusobola okukola ebintu bingi kubanga ensi yonna etambulira ku tekinologiya. Yalabudde abantu naddala abalima bakomye okukolerera olubuto bateeke ekibalo mu buli kye bakola bakikole mu bunene nga bw’ofunako eky’okulya ofissa eky’okutunda.

Ebirime okuli ebikajjo, kasooli, ppamba, okulunda ente ennansi byonna ofunamu kitono ssinga obeera okolera wafunda. Tekinologiya y’asobola okuyamba akolera awafunda.

OKULIMA N’OKULUNDA Ebyobulimi bikolebwa mu byalo naye n’ebitundu ebyetoolodde Kampala nga Wakiso musobola bulungi okubeerako bye mukola ng’okulunda ebyennyanja ku mbalama z’entobazzi, okulunda enkoko oba okulima ebimuli mweggyemu endowooza nti ebyobulimi birina kukolerwa mu kyalo.

Ekirala n’aba Kampala ne Wakiso bangi balina ettaka lye baagula y’ensonga lwaki balina okufaayo ku njiri y’okulima. Waliwo omukadde yafudde ennaku ezo yamutegeeza nti yali talabangako gavumenti erowooleza bantu nga NRM kubanga etaddewo ensawo y’abavubuka, ensawo y’abakyala, ssente ez’okukozesa n’okwewola ziringa obuwumbi 400 buli mwaka.

BANNANNYINI TTAKA N’ABEEBIBANJA

Yalabudde nti ekimu ku biremesezza okukulaakulana, abantu balina endowooza nti nnannyini ttaka bw’afa balina okulitemaatemamu baligabane n’asaba bakoppe enkola y’Abazungu nti famire ekola kkampuni n’eteekamu ettaka eryo ne balikozesa olwo abafamire ne basigala nga bagabana amagoba.

Yalabudde bannannyini ttaka abakaka abeebibanja okwegula nti tewali alina buyinza kugoba wa kibanja oba okubakaka okwegula era tewali akkirizibwa kusala ku kibanja kyo nti akuwe ekyapa. Yagambye nti abakikola bajja kuvunaanibw

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agambibwa okuwoowa Kenzo ne Rema...

Sheikh ono okuvaayo kiddiridde Kenzo wiiki ewedde okutegeeza nga Muzaata bwe yamuvumidde obwereere n’amulangira...

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ekyama mu bakazi Haruna Mubiru b'awasa. Anoonya baana ba bagagga.