TOP

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

By Musasi wa Bukedde

Added 20th July 2019

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sit2 703x422

Akulira ebikwekweto e Buloba, Atwine ng’alaga emmundu gye baabadde babbisa omugagga Mutekanga.

OMUZIGU eyateeze omugagga ku kikomera kye n’amussa ku mudumu gw’emmundu akiguddeko omugagga bw’amuviiridde mu tteke n’atalantuka, emmundu n’egwa eri era bw’asituseewo n’assaako kakokolatondekannyuma.

Bino byabadde Bbira-Bulenga, omubbi w’emmundu bwe yateeze Esau Mutekanga ku kikomera kye ku ssaawa 5:00 ez’ekiro wabula omutemu ne bimukyukira Mutekanga bwe yamwanguyidde n’amusuuza emmundu ey’ekika kya AK 47. Mutekanga akolera mu Uganda Management Institute [UMI] mu Kampala, alunyumywa bwati; “Natuuse ku ggeeti essaawa nga ziri mu 5:00, ez’ekiro.

Nabadde nva bwenti mu mmotoka hhenda okuwulira nga waliwo omuntu ali emabega wange antaddeko ekintu ekinnyogoga. Okutunnula emabega nga ndaba omusajja antaddeko emmundu,” Bwatyo Mutekanga bwe yategeezezza. Yayongeddeko nti muli nasoose ne nzikiriza mu mutima nti omusajja ono azisse, wabula abaana bange.

Neegumizza nti bwe seerwanako hhenda kufa era ne bwe neerwanako kye kimu ne nsalawo neerwaneko. Nawanise kompyuta y’omu ngalo gye nabadde nayo gattako ebisumuluzo by’emmotoka bye nabadde nkutte mu ngalo mbimuwe era ne mugamba nti mukama wange buli ky’oyagala kiikino nga bwe musemberera ne nkozesa omukisa guno ne musamba omugere omusajja n’agwa wansi.

Namutuddeko mangu ne tutandika okulwanira emmundu gye yabadde nayo ekika kya AK 47, ng’eza poliisi nga munyigiriza era ng’omudumu gwayo tuguwanise waggulu okutuusa lwe namugonzezza nga bwe munyiga nagisuula eri era wano omubbi olwayimuse yabadde yekka nadduka.

“Natidde okumugoba kubanga nalowoozeza nti osanga alina banne abalala abeekwese era omubbi olwaduse ne nkwata emmundu ne ngiggyawo wansi ne nkubira akulira poliisi y’e Bulaga Nakabugo e Bulenga ASP/ Kamulali atutwala n’ayanguwa mangu era emmundu ne ngibakwasa ne bagitwala,” bwatyo Mutekanga bwe yategeezezza.

ASP/ Kamulali yagumizza abatuuze b’omu kitundu kino ekiro,nga baakazuula emmundu nti tebatya poliisi yatandise dda okuyigga ekibinja ky’ababbi bano ababadde bagikozesa okubba n’okusuza ekyalo ky’e Bulenga n’ebitundu ebikyetoolodde nga tebeebase.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yakakasizza nga poliisi bwe yafunye emmundu ebadde etigomya abantu b’e Bulenga nga kuliko ne magaziini era nga kumpi buli lunaku babadde bagikozesa okubba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...