TOP

Bugingo ayitiddwa mu kakiiko yeewozeeko

By Musasi wa Bukedde

Added 21st July 2019

Bugingo ayitiddwa mu kakiiko yeewozeeko

Jo2 703x422

Paasita Bugingo

OMUSUMBA Aloysius Bugingo ayitiddwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku biweerezebwa ku mpewo ekya UCC yennyonnyoleko kubigambibwa nti yatyoboola mukazi we Teddy n’okujolonga abakazi okutwaliza awamu.

Bugingo yasinziira ku mukutu ggwe ogwa Salt Tv ne Salt Radio n’ayogera ebigambo ebyalengezza mukyalawe bwe yamulangira ekikulukuto n’ategeeza nti mu bufumbo bwe emyaka 29, beegatta emirundi egitawera 100.

Omwogezi w’ekitongole kino Ibrahim Bbosa yategeezezza nti Bigingo yayitiddwa abeeyanjulire ku Lwokubiri lwa wiiki ejja bamubuuze ku bigambo bino n’oluvannyuma basalewo eky’okumukolera.

Bbosa yagambye nti, bwe banaakizuula nti, ddala bye bamulumiriza bituufu, ajja kuweebwa ekibonerezo okuli eky’okuyimiriza layisinsi y’emikutu gye ttivvi ne leediyo okumala ekiseera ekigere, okumuggalira ddala ku mpewo, okumusasuza engassi oba okumulabula. Bbosa era yategezezza nti, Bugingo ayalagiddwa okuleeta obutambi bwonna abantu bwe bazze beemulugunyaako nga talina ky’akyusizzaamu n’amaloboozi naddala ago agagambibwa nti, yavvooleramu mukyala we Teddy.

Bbosa era yetegeezezza nti wadde Bugingo yayitiddwa yeewozeeko naye guno gwe mulundi ogusooka okumuyita wadde nga bazze bawulira ebimwogerwako era nga bamugoberera naye babadde tebafunanga muntu avaayo ne yeemulugunya nga bwe kibadde ku luno.

Bugingo okuyitibwa kiddiridde omukyala omusuubuzi ayitibwa Jane Werikhe Kazibwe okutwalira ekitongole kya UCC ekiwandiiko ng’akisaba kiyingire mu nsonga za Bugingo olw’okusussa okutyoboola mukyala we.

Ebigambo bya Bugingo tebyakoma ku musuubuzi kuwandiikira UCC wabula byavaako obwegugungo ku lunaku lwa Mmande ng’abakyala beekozeemu omulimu batwale ppamba ku kkanisa ya Bugingo kye baayita okumuddizzaawo sente ze yakozesanga okugulira mukyala we ppamba gwe yamulangira ku mpewo.

Ku lunaku olwokubiri Omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiraano Moses Kafeera yayise Bugingo n’amunnyonnyola ku ki ki ky’alina okukola okwewala ebigambo ebisasamaza oba ebinyiiza okuvaako abantu obwegugunga batabangule emirembe mu Kampala era n’amulabula obutaddamu kwogera ku nsoga za famire ye.

Mu ngeri y’emu ne minisita akwasisa empisa n’obuntubulamu Fr. Simon Lokodo yategeezezza nga bwe bataddewo akakiiko okunoonyereza ku Bugingo ku ngeri gy’azze avvoolamu mukyala we n’abantu abalala era akakiiko kaakumala wiiki bbiri nga kanoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mpolo9webusebig 220x290

Bakatikkiro b'ebika bafunye essuubi...

Ssaabawolereza wa Mmengo, Christopher Bwanika yasabye ebika okuwandiisa enkiiko z'abayima era balambike bulungi...

Renah1 220x290

Renah Nalumansi azaalidde maneja...

Omuyimbi Renah Nalumansi azaalidde Justin Bas omusika ne yeewaana "sikyali mu kiraasi ya ba laavu nigga"

Tegula 220x290

Mutabani, buno bwe butaka bwaffe...

MUTABANI wa Bobi Wine akuze. Era nga taata ow’obuvunaanyizibwa, Bobi Wine takyaleka mutabani we waka.

Fun 220x290

Nakakande yeeriisa nkuuli mu Miss...

NNALULUNGI wa Uganda, Oliver Nakakande (owookubiri ku ddyo) ayongedde okutangaaza emikisa gye okuvuganya mu mpaka...

Kubayo 220x290

Eddy Kenzo Guma newange bibuuza...

ABAYIMBI Jose Chameleone ne Eddy Kenzo baabaddeko mu kivvulu kya Wizkid e Lugogo. Baalabiddwaako nga beesika mu...