TOP

Aba poliisi 300 babanguddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 21st July 2019

Aba poliisi 300 babanguddwa

Mo2 703x422

Sam Omala

SAM Omala alabudde bannabyabufuzi abagenda okwesimbawo mu kalulu ka 2021, obutatabangula ddembe ly’abantu n’obutamenya mateeka nga banoonya obululu.

Yasinzidde Namboole ng’afulumya abaserikale 300 abakitongole ekikola ebikwekweto n’okukkakkanya obujagalalo ekya Field Force Unit (FFC) okuva mu Kampala n’emiriraano. Agambye nti basoose kubangula ba Kampala kubanga Kampala ly’eriiso lya Uganda era bw’eba teriimu mirembe ne Uganda ebeera tetebenkedde.

Ategeezezza nti bannabyabufuzi ssi balabe ba poliisi wabula bakole ebintu ebirungi ebyo ebisobola okuwa ensi yaabwe ekifaananyi ekirungi. Agambye nti okubangulwa tekuggwa wadde nga babadde babangulwa, naye baddiddwaamu okuweebwa obukodyo obupya era oyo anaamenya amateeka, waakuvunaanwa ng’omuntu ssekinnoomu.

Rashid Agero atwala ekitundu kya Kampala agambye nti balina obukodyo bwe bafunye bwebataafuna omulundi ogwasooka.

Waabaddewo obwetaavu ng’abantu beemulugunya ku ngeri gye babakwatamu etyoboola eddembe lyabwe.

Yeebazizza abaduumizi, abatendekeddwa, n’abatendesi, n’abasaba bakole omulimu gwabwe mu bwerufu bafuule Uganda ekifo ekirungi eky’okubeeramu era bakole emirimu gyabwe ng’abatendeke ate mu mateeka.

Baakuguse mu kukwatamu abeekalakaasi abakanyuga amayinja, enkonyogo, abalina emmundu n’ebiso n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bba wa Julie Angume talabiseeko...

JULIE Angume ebintu bimutabuseeko bbaawe omupya, Sam Sekajugo bw’atalabiseeko ku mukolo gwe ogw’okumwanjula mu...

Fanayo 220x290

Obukodyo mukaaga bwe nkozesa okulembeka...

OBUYIIYA bwa ssente ebiseera ebisinga kiva ku kusoma embeera gy’otambuliramu, kati mu kaseera nga kano ak’ennaku...

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.