TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Oluvudde e Luzira n’addamu Sitalinyebwa ne Mugalu ku okubba

Oluvudde e Luzira n’addamu Sitalinyebwa ne Mugalu ku okubba

By Musasi wa Bukedde

Added 21st July 2019

Oluvudde e Luzira n’addamu Sitalinyebwa ne Mugalu ku okubba

Jip2 703x422

Sitalinyebwa ne Mugalu ku okubba (kkono) n’embuzi babbye.

OMUVUBUKA abadde yaakayimbulwa mu kkomera e Luzira ku musango gw’okubba, poliisi emukwatidde mu bubbi bw’entebe. Francis Mugalu 25, nga yeeyita ‘Kamwokya Mubaazi’ mu lufula y’oku Kaleerwe yakwatiddwa ku Lwokusatu oluvannyuma lw’abasuubuzi okumulumiriza okuba n’ekibinja ky’abavubuka abeefuula abasuubuzi b’ebisolo okuli ente, endiga n’embuzi n’ekigendererwa ky’okubibba.

Mugalu yakwatiddwa ne Derick Sitalinyeebwa omutuuze mu Kiteezi eyagambye nti, mubaazi mu lufuna.

Mu June w’omwaka guno Mugalu yakwatibwa olw’okubba ediga n’atwalibwa e Luzira ng’eno yavuddeyo nga July 1, n’atandikira we yakoma. Toofa Baluku 32, omusuubuzi w’ebisolo ku Kaleerwe yategeezezza nti, Mugalu alina abavubuka ababaazi b’akolagana nabo era mmotoka bwe ziva mu byalo ziyingira lufula abasuubuzi ne bakuh− haana era mu kavuyo ako Mugalu ne mikwano gye we babbira. “Bw’oleeta ebisolo mu lufula nga tolina akuyambako oyinza obutakwasaamu kuba ababbi nabo beefuula abasuubuzi ng’akwata ekisolo abulawo nakyo”, Baluku bwe yategeezezza.

Musa Kawalya omu balunzi yategeezezza nti, n’abasuubuzi b’ebisolo nabo babbi bagenda mu ffaamu z’abalunzi ne batikka ebisolo, yagasseeko nti, wiiki ewedde ababbi baagenda mu ffaamu ye ne babba embuzi 30, ente 10 n’endiga ssatu.

Yagambye ababbi ebisolo babitambuliza mu mmotoka embikke okuyita ku poliisi. Mugalu yeewaanye nti, e Luzira agatwala nga makaage.

Sulaiman Kakoozza omu ku bakulira ebyokwerinda mu lufula y’oku Kaleerwe yategeezezza nti, Mugalu n’ekibinja kye tebabalina mu bitabo bya lufula wabula batambulira ku mmotoka ezigenda mu butale okusuubula ebisolo bwe bakomawo mu lufula ne balyoka babba ebisolo by’abasuubuzi. Bagguddwaako omusango ku fayiro nnamba SD:15/17/07/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...