TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaalongo avunaaniddwa kutta mukazi we lwa ssente 40,000/-

Ssaalongo avunaaniddwa kutta mukazi we lwa ssente 40,000/-

By Musasi wa Bukedde

Added 21st July 2019

Ssaalongo avunaaniddwa kutta mukazi we lwa ssente 40,000/-

Lab2 703x422

SSEMAKA akwatiddwa olw'ebigambibwa nti, atuze mukazi we n’amutta lwa ssente 40,000/-. Ssaalongo Akireo Malege 59, omusuubuzi mu kabuga k’e Kikunyu e Kammengo akwatiddwa poliisi y’e Mpigi lwa kukkakkana ku mukazi we Gorret Mbabazi 40, n’amutuga n’amutta lwa kumubanja ssente ze 40,000/-.

Abafumbo bano baasoose kufuna butakkaanya oluvannyuma lwa Mbabazi okunoonya ssente ze emitwalo ena ne zimubula kyokka bwe yazisabye bba Ssaalongo Malege n’amulangira obwenzi era n’agaana okuzimuddiza ekibaviiriddeko okulwana okumala ekiseera.

Kigambibwa nti ng’okulwanagana kuwedde, Ssaalongo Malege yeefudde egenze owa mukyala muto wabula n’akomawo n’asooberera Mbabazi n’amugwa mu bulago n’amutuga.

Nga Ssaalonga amaze okutta mukazi we, omulambo yaguggalidde mu nnyumba n’agenda ewa mukazi we omulala gye yasuze era olwakomewo ku makya n’atandika okubikira abantu nti, mukazi we Mbabazi afudde.

Abatuuze batemezza ku poliisi y’e Mpigi egenze okwekebejja omulambo ne bagusangako enkwagu mu bulago n’ebisago ebirala ku mubiri ekibawalirizza okugutwala mu ddwaaliro e Mulago ne kizuulibwa nti yatugiddwa era Ssaalongo Malege n’akwatibwa n’aggalirwa mu kaduukulu ka poliisi e Mpigi.

Abooluganda lwa Mbabazi baategeezezza poliisi nti, omuntu waabwe tabadde mulwadde. Akulira poliisi y’e Mpigi, Elias Twesigye ategeezezza nti, Malege aguddwaako omusango gw’obutemu ku fayiro nnamba CRB; 131/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...

Simba 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi