TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke

By Musasi wa Bukedde

Added 21st July 2019

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke

Got2 703x422

Loodi meeya Lukwago ng’ayitaayita mu basuubuzi.

ABASUBUUZI abasoba mu 800 abakolera mu katale k’e Kitintale mu munisipaali y’e Nakawa bali ku bunkenke oluvannyuma lwa nannyini ttaka okuli akatale kano okubalagira okwamuka ekifo kye.

Mu lukiiko olutudde mu kifo kino nga lwetabyemu abakulembeze ab’enjawulo nga bakulembeddwaamu Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago, Ronald Kiggundu ssentebe w’abasuubuzi agambye nti, akatale kano kali ku ttaka lya David Wasswa Ssenteza era yabawadde ebbaluwa ebalagira okuva ku ttaka lye.

Kiggundu yategeezezza nti, bwe baafuna ebbaluwa eno baagenda ewa minisita wa Kampala, Betty Kamya n’akubira Ssenteza n’abawa omwaka gumu gwokka nga bavudde mu kifo kino. Moses Okwera kansala wa Nakawa 1 agambye nti, ssente z’okuzimba akatale akapya baaziyisa naye tewali nkola nnambulukufu n’ekitongole kya KCCA.

Loodi meeya Lukwago yategeezezza nti, agenda kuyita omugagga Ssenteza ku City Hall baogere ku nsonga z’akatale kano. Lukwago yayongeddeko nti singa Ssenteza agaana okuteesa baakweyambisa amateeka okutaasa abasuubuzi abakoledde mu katale kano okumalira emyaka 50.

Lukwago yagambye nti tayinza kukkiriza basuubuzi bano kumala gasengulwa n’agamba nti bazze bagulumba n’ensonga z’akatale k’e Kitintale era nga waliwo ettaka lye baabagulira kyokka abakugu ba KCCA bakyalemeddwa okuzimbako akatale.

Omubaka wa Nakawa Micheal Kabaziguruka teyamatidde olw’omwaka ogumu omugagga gwe yawa abasuubuzi bano n’agamba nti buno obudde butono nnyo abasuubuzi okuteekateeka okugenda mu kifo ekirala. Yasabye abakugu mu KCCA okukwatagana n’abakulembeze okulaba nga bazimba akatale akalala.

Omukugu Henry Bukenya okuva mu KCCA yagumizza abasuubuzi bano nti kontulakiti y’okuzimba akatale kano yaggwa naye wakyaliwo obusonga obusigalidde butono ddala. Oluvanyuma baagenze ne balambula ettaka KCCA lye yagulira abasuubuzi okuzimbako akatale akapya nga baazimbako ne kaabuyonjo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600