OMUWANDIISI mu Klezia ya St. Jude Buseese mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi alina talanta mu kuwuuta ebbidde ate bw’atuuka we guli tasaaga.
Musajjamukulu ono Luoy Kamanzi Bakyaita oba omwenge guno tatera kugulabaalaba? Omubaka Suzan Nakawuki yabayiyeemu kkuleeti ya bbiya era y’omu ku baasooseeyo.
Mu kifo ky’okutoolako eccupa emu n’abalala bafuneko yayodde muyoole era yavuddeyo akwataganye nga n’eccupa ezimu ezipakidde mu kkooti.
Yabadde mu katale kwe baasondedde ssente z’okuzimba Klezia. Omwenge bwe gwazze Bakyaita ebisigadde yabadde tayagala kumanya era obwedda abagezaako okumulemesa okuggyamu omwenge ng’abategeeza nga n’awaka bwe yaleseeyo abantu abaguwoomerwa.
Obwedda atudde mu ntebe nga bwakuba ettendo n’okutendereza omukisa ogwamukedde okubaleetera omubaka Nakawuki