TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

By Musasi wa Bukedde

Added 21st July 2019

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Tip2 703x422

MUKAZI mukulu atuuyanye nga bwe zikala bwe bamukutte lubona ng’asonseka ebyawongo mu mpompogoma y’ekiswa mu luggya lw’Ekkanisa ya St. Stephens Kirinnyabigo e Mutundwe.

Abaamulabye baatemezza ku Mubuulizi Kulanema Ssebuliba asula emmanju w’ekkanisa eno ne ssentebe w’ekyalo Tonny Ssekitooleko abazze ne bakunya omukyala ono eyagambye nti abadde yeeyambula byokoola ebyajjira ewuwe mu kkapa ne bamuwa amagezi okukozesa obuwale bwe obw’omunda okukola emikolo gino. ‘Mubuulizi, nze siri mulogo, eby’obuwangwa bye bintawaanya ne binnemesa n’okuzaala era embeera eno ye yantuusa n’okutambulako’’.

Bukirwa yakwatiddwa ku Mmande ku makya. Bye yatadde mu kiswa mwabaddemu empale ze enzirugavu n’enjeru, oluwombo lw’ebinyebwa ebisiike n’ebirala. Omubuulizi Ssebuliba yamusabye akkirize Mukama n’okulokoka kye yagambye nti takirinaako mutawaana kasita batayokya bintu bye.

Ssebuliba ebyawongo yabifuseeko amafuta amatukuvu n’eg’ettaala n’abyokya n’oluvannyuma n’amusabira. Ssekitooleko yagambye nti bulijjo awulira ebyogerwa ku Bukirwa ng’amuwakanira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600