TOP

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

By Musasi wa Bukedde

Added 21st July 2019

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Lip2 703x422

ANN MARY Namirimu yafudde nga July 9, 2019. Ku myaka emito gy'obadde nagyo Omukama gye yakuwa wasobola okuweesa bazadde bo ekitiibwa.

Akamwenyumwenyu akataamuvangako, kaleeteranga abantu bangi okweyuna empeereza zo. Wadde wali mu woofi isi eyettanirwa abantu ey'okukulira abakozi ba Gavumenti ku disitulikiti y'e Mpigi, tewakaluubirizanga bantu.

Ne ku baakuziise, mwabaddemu eyankubye akaama nti, akujjukirako ku muyamba ku kumaliriza oba okuyisaamu empapula za muwala we awataali kiremya yenna. Ann abadde muganzi mu booluganda lwo, bakozi banno ku disitulikiti ne mu bantu b'ekyalo. Obadde musaaze ate nga kizibu okunyiiga. Obadde ova mu famire ey'amaanyi wabula nga teweewanika.

Obadde mugonvu ekisusse. Emirimu gyo obadde ogikola n'okwagala ate ng'okwata ebiseera anti obudde obutuukirwako ku mulimu oba obw'okunnyuka ng'obuwa ekitiibwa. Naye emirimu bwe gyabangawo egy'okukola, ng'oyinza okulowooza nti, toliiwo so nga mw'oli mu woofi isi okakkalabya.

Wakolerako mu ssomero lya kitaawo, Mw. Kyasanku naye nga teweegulumiza wafanga ku kimu, omulimu gwo ogukoze otya. Ann wasadde bangi; bazadde bo baakukusubwa, baganda bo okuli; Claire, John, Charles, Peter, Mathias, Gabriel, Cathy, n'abalala wabakubyemu effumu. Ann wummula mirembe, okutuusa lwe tulisisinkana, mu bulamu buli obuliddirira.

Omukama ayongere okugumya abantu bo era akulamuze kisa, osaanire obulamu buli obutaggwaawo, ffenna bwe tukolerera. Nze Julius Ntege Ssengendo, mukwano gwa famire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.