TOP

Wali muyigiriza ow'ekisa

By Musasi wa Bukedde

Added 21st July 2019

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lab2 703x422

OMUGENZI musomesa Monica Baliddawa wadde ng'emyaka kati gigenda kuwera ena bukya otuva ku maaso, ebirungi bye walekawo bikufuulira ddala omukyala eyali endabirwamu era ow'omugaso ate ow'amaanyi naddala mu masomero ge wali okulembera.

Wali mukulu eyali amanyi embeera y'ensawo z’abazadde. Wali owuliriza abazadde mu biseera nga tebannakusasula bisale by'abaana baabwe ekintu ekyakufuula omuzadde eri abaana b’otozaala. Wali owuliriza ensonga z'abazadde buli lwe wagobanga abayizi olw’ebisale by'esomero ng’era y'ensonga lwaki abataka b'e Buwagi mu Sazza ly'e Kagoma mu disitulikiti y'e Jinja bakusuubwa nga bangi n’okutuuka leero bakyakaabira enkolagana yo nabo.

Olunaku lwe baakukyusa okujja ku Buwagi P/S abazadde baalabwako nga beekandagga nga bino byonna bikwoleka omugaso gwe walina gyebali nga n'abalala batuuka n’okukyusa abaana baabwe.

Wali omuntu akola omulimu gwe n’okwagala kwonna nga n’okwagala enkulaakulana mu kitundi kyo ku lw'essomero wabeera nga wa nkizo. Wayagalizanga buli omu okubeera mu mbeera eyeeyagaza.

Buli kiseera, tunaakujjukiranga obulamu bwaffe olw’ebyo bye watusomesa n’okutuyigiriza naddala okubeera abakozi era ab'obuvunaanyizibwa mu bulamu bwaffe. Wadde nga wali okolera mu kyalo naye wakubirizanga bakyala banno okwekuumira ku mutindo nga banyirira era nga bayonjo okuvvuunuka enddwadde ez'enjawulo. Wadde watulekawo naffe tukusuubiza nti, leero tukola ebyo byennyini ebikuweesa ekitiibwa n’okukujjukirwako ng'omukyala eyasooka okukulembera essomero lya Gavumenti mu Ssaza Kagoma mu disitulikiti y'e Jinja.

Ku myaka 43 gye wafi irako, wali kyakulabirako gye tuli era eyeegombesa abakyala ku kyalo olw’okubeera omukozi.

Kino tekisobola kutuva ku maaso wadde mu bwongo bwaffe kuba naffe watutendeka okubeera abakozi, kye tutambulirako ng’era kye tugenda okutambulirako. Twebaza Katonda olw’obulamu bwo ne byonna bye twakufunako okuli essanyu, okutuyigiriza, okutusikiriza, okutwanjulanga mu mikwano gyo naddala mu bakozi bano nga wano naffe we twafunira emikwano emirala.

Wali kiddukiro ky'abazadde era obaddewo okuyamba abalala ng’oyita mu bintu eby'enjawulo. Bulijjo tukuteeka mu ssaala zaffe era olizibeeramu obulamu bwaffe bwonna nga tukusabira obulamu obutaggwaawo eyo gy’oli Mukama akukwatirwe ekisa. Wummula mirembe munnange bwe twasoma. Ku lwa famire y’omugenzi, nze Rebbecca Munafu, mukwano gwa famire omusawo ku ddwaaliro ekkulu e Iganga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.