TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisitule y'ebyenjigiriza erangiridde okuleeta oluswahiri mu masomero ga secondary omwaka ogujja

Minisitule y'ebyenjigiriza erangiridde okuleeta oluswahiri mu masomero ga secondary omwaka ogujja

By Moses Lemisa

Added 22nd July 2019

Minisitule y'ebyenjigiriza erangiridde okuleeta oluswahiri mu masomero ga secondary omwaka ogujja

Sec1 703x422

MINISITULE y’ebyengigiriza  erangiridde eteekateeka y’okusomesa abayizi ba ssekendule oluswayiri omwaka ogujja ku buwaze.

George Mutekanga omumyuka wa kamisona w’amasomero ga pulayimale n’amatendekero ag’obwannanyini  ku mukolo gw'essomero lya All Saints Junior Schoolo erisangibwa e Namataba mukono ku luguudo lwe Jinja abayizi mwe baalagidde  ebitone ebyenjawulo  okuli , okuyimba , emisono gy’okwambala, okuyimba n’ebirala

Ku mukolo guno abayizi  abakulembera bannaabwe baalayiziddwa  Canon Nafutali Kabanda ,Sadat Rwerutaaya  Imam w’omuzikiti gwe Namataba  abaasabye  abayizi  okukuuma eddiini kibayambe okukula nga batya katonda ekijja okubatuusa ku buli kirungi mu nsi .

Mutekanga  yagambye nti 2020 amasomero ga sekendule gonna gagenda kutandika  okusomesa olulimi oluswayiri ku buwaze okuva mu S.1 yagasseeko n’asaba abakulira ebyengigirizza mu bitundu  okulambula amassomero  ng’asangibwa nga tegalina bisanyizo gagalwe .

Yagasseko  n’asaba abakulira amasomero okufaayo okutumbula  ebitone bya bayizi  singa amagezi g’omu kibiina gagaana  omwana aba asobola okweyimirizaawo ku kitone ng’okusamba omupiira ,okuyimba n’ebirala , yasabye n’abazadde  okukomya okuteeka abaana ku massomero ne batafaayo ku balambula kumaanya nsoma yaabwe

Steven Matovu omukulu w’essomero  yalabudde abazadde okukomya empisa ensiwufu mu maaso g’abaana kye yagambye nti kiviriddeko abaana bangi okusanga obuzibu mu kibiina , yagambye nti omwana bwava awaka ng’abazadde bakubaganye oba bayombaganye mu kibiina okusoma kumulema aba alowoozza ku bibadde awaka .

“Abazadde  mukomye okwambala enkunamyo , okuyomba ,okulwana mu maaso
g’abaana kibavirako okwonooneka” Matovu bwe yategeezezz

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga