TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okuyingiza mu busikawutu kijja kutuyamba okulwanyisa enguzi

Okuyingiza mu busikawutu kijja kutuyamba okulwanyisa enguzi

By Dickson Kulumba

Added 22nd July 2019

Okuyingiza mu busikawutu kijja kutuyamba okulwanyisa enguzi

Kat1 703x422

Gen. katumba Wamala ng'ayogerako n'abaana abasikawutu

MINISITA omubeezi ow’ebyentambula mu ggwanga, Gen. Edward Katumba Wamala agambye nti okubunyisa kw’ebibiina by’abasikawutu mu masomero y’emu ku ngeri eneeyambisibwa okulwanyisa enguzi mu Bannayuganda.

Bino yabyogeredde ku kyalo Nkondo- Kalule mu ggombolola y’e Nnyimbwa mu Luweero bweyabadde ayingiza abayizi n’abasomesa abaasobye mu 100 mu busikawutu ku Ssande July 21,2019 naagamba nti abaana bwebatatandikirwe okuva wansi,enguzi ejja kubeera nzibu ya kulwanyisa.

“Njagala okusaba abazadde nti abaana mubawagire mu kuyingira obusikawutu. Obusikawutu bulungi kubanga buzimba omwana n’ofuna omuntu ajjudde; mu mpisa, mu bikolwa,obukulembeze. Kino kyakutuyamba okufuna abaana abasobola okulaba eggwanga lyaffe mu ngeri endala,” Gen. Katumba bweyalambuludde ebirungi ebiva mu busikawutu.

Gen. Katumba yasomoozezza Bannaluweero okweggyamu endowooza y’entalo okubayitamu nebalindirira gavumenti ebawe buli kimu naagamba nti balina okukola n’amaanyi mu nkola eya Nkobazambogo.

“ Jjuuzi nali njogerako ne Katikkiro Charles Peter Mayiga nemugamba nti abantu ba Buganda bwebanakoma ku ky’okuyimba Ekitiibwa kya Buganda kyokka naye nga tebakola,tetujja kugenda mu maaso. Ekyayitimusa Buganda kwe kusoma n’okukola naye ebintu bino,abantu baffe babivaako,” Gen. Katumba bweyakubiriza Bannaluweero okukola.

Ge. Katumba yebazizza essomero olw’okuteeka essira ku buttoned bwensi naagamba nti ekigendererwa ky’abasikawutu kwe kusimba emiti 10 buli mwaka okuva ku miti ebiri gyebasimba mu kiseera kino, okutojjeza obutonde bwensi obwonoonese ekisusse ensangi zino.

Ye omutandisi w’amasomero ga Janan, Mike Kironde yagambye nti basalawo okugunjula abaana nga balamba nga bateeka mu masomero gano ebisomesebwa ebinayamba okubafuula abantu b’omugaso okuli n’okuleeta obusikawutu.

“Eggwanga lyaffe tulabye nga lirina ebizibu bingi. Kyetuvudde tutandikira ku kubafuula abantu b’omugaso mu nsi yaabwe, abatenyigire mu mizze ng’okulya enguzi. Abaana tubayigiriza n’okufa ku buttoned bwensi era abali mu nasale buli omu agenda kudda eka n’omuti gw’ekibala,gisimbibwe eka,” Kirondenaye eyafuuse omusikawutu bweyayogedde.

Abaana abayingiziddwa kuliko aba Pulayimale ne siniya ng’abamu bali wakati w’emyaka 6-10,11-15,15-18 era ng’abazadde basabiddwa okulaba nga babusigalamu.

Hajj Sulaiman Habib nga yakulira obusikawutu e Luweero yategezezza nti ng’okubula kw’ebibiina by’abasikawutu mu masomero e Luweero, bwekiviriddeko eggwanga okufuna abaana abatali bateeketeeke bwatyo naatiriza ekirowoozo kya Gen. Katumba eky’eggwanga okuweza abasikawutu obukadde butaano bwekisoboka.

Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze e Luweero okuli Omubaka wa Pulezidenti mu kitundu kino Pheobe Namulindwa, Omubaka wa Katikamu South mu Palamenti, Edward Ssembatya, abaami ba Kabaka e Bulemeezi nga bakulembeddwamu Sipiika w’essaza Margaret Mutyaba n’abalala.

Ku lunaku lwe lumu abayizi bayoleseza ebitone eby’enjawulo mu nnyimba ne Katemba ng’era omulamwa gwabadde gwetoloolera ku kulwanyisa obuli bwenguzi mu ggwanga n’okulaga abantu nti si buli ekikolebwa,kirina okweebwako enguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.