TOP
  • Home
  • Agawano
  • Amazina n’ennyambala bizaalidde Winnie Nwagi akabasa

Amazina n’ennyambala bizaalidde Winnie Nwagi akabasa

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd July 2019

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde n’abeessomero.

Nwagi 703x422

Ebimu ku bifaananyi ebiri mu katambu akazaalidde Nwagi ebizibu

Essanyu ly’omuziki omuyimbi Winnie Nwagi lye yagenze okuwa abayizi ba St. Mary's College Kisubi (SMACK) ku kabaga kaabwe akaabadde ku ssomero liggweredde mu kunyiiga abazadde bwe bamutabukidde ng’abamu bamulanga kwesittaza baana baabwe.

Abamu obwedda bamuvumirira kwambala nkunamyo mu maaso g’abayizi ate abalala nga beekokkola mazina ge yayolesezza nti, gaabadde gesittaza abayizi.

Ekyaleetedde Nwagi obuzibu ke katambi akaamukwatiddwa ng’azina n’abamu ku bayizi abalenzi ku siteegi.

Mu katambi kano akasaasaanidde ku mikutu gya ‘Social media’, Nwagi n’abazinyi be baalabibwa ng’abayizi bayaayaana okuzina nabo era waliwo Nwagi gwe yanyigidde ku kisenge ate awalala ng’abayizi babiri bamunyigira wakati waabwe.

 wagi ngazina nomusajja gyebuvuddeko Nwagi ng'azina n'omusajja gyebuvuddeko.

Abazinyi be nabo beekoze ekigenyi endongo bwe yakutte akati, amazina bagateekamu kye  wandiyise ebirungo. bazinye buli kika kya mazina omwabadde n'okuzina nga bakutamye bwe beekulukuunya ku ffulaayi z'abasajja.

Waliwo akatambi gwe kaalaze ng’omuyinzi amukutte okugulu akuwanise waggulu bwe bazina.

Embeera eno ye yasinze okutabula abazadde n’abantu abalala obwedda abalaba akatambi kano ne batabukira Nwagi.

Leero ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face Book, Nwagi yeetonze olw’ebyo ebyabaddewo. Agamba nti, olw’okwagala okusanyusa abawagizi be olumu ayita we yandikomye era y’embeera eyabadde ku ‘SMACK’ era nti kino tagenda kuddamu kukikola.

Julian Kyazze, omu ku bakulira Swangz Avenue ekibiina Nwagi mw’ayimbira agambye nti, bino ebyogerwako byaliwo nga July 13 omwaka guno.

“Tuttute obudde okunoonyereza mu nsonga eno era ne kizuulwa nti ddala waliwo ensobi eyakolebwa ku ludda lw’omuyimbi era y’ensonga lwaki tuvuddeyo okwetondera abo bonna abaayisiddwa obubi nga tusuubiza abantu baffe nti ensobi ng’eno tegenda kuddamu kukolebwa,” Kyazze bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600