TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Alondodde mukazi we gye yanobera n'amusala obulago n'amutta!

Alondodde mukazi we gye yanobera n'amusala obulago n'amutta!

By Edward Luyimbazi

Added 23rd July 2019

OMUSAJJA alondodde mukyala we gye yanobera n’amusala obulago n’amutta ng’amulanga kumukyawa.

Temu 703x422

Omuserikale ng’akutte ekiso omutemu kye yakozesezza okutemula Nyanvura (ku kkono) e Kinnawataka.

Justine Nyanvura 28, ye yattiddwa ng’omutemu yamulumbye wa muganda we e Kinnawattaka we bayita mu Katoogo, ku Ssande ekiro.

Bba w’omugenzi, eyategeerekeseeko erinnya erimu erya Deus, gwe balumiriza ku ttemu lino.

Omugenzi okuttibwa yabadde ava ku dduuka, n’asanga abantu abaabadde bamuteeze ne bamusala era mu kulwana, yakubye enduulu abantu okujja bamutaase.

Muganda we bwe babadde babeera, Rehema Nabbosa yategeezezza nti, Nyanvura yagenze ku dduuka okukima eryanda ly’essimu kyokka waabadde waakayita ekiseera kitono, n’amuwulira ng’akuba enduulu.

Yayanguye okufuluma okugenda okulaba muganda we ky’abadde kyokka ensisi yabuze okumutta bwe yamutuuseeko ng’afuuwa musaayi, naye kwe kutakiza enduulu abatuuze ne bajja ne bamuyambako okumuyoolayoola okumutwala mu ddwaaliro.

Baamututte mu kalwaliro akali mu kitundu kyokka nga mugonvu era baabadde bayingira munda n’agwa wansi n’afa.

Nabbosa agamba nti, muganda we yali yanoba ewa bba era omusajja abadde amwetayirira addeyo awaka kyokka ng’amutegeeza kimu nga bw’atakyasobola kudda wuwe olw’emize gye n’okumubonyabonya ekisusse.

Oluvannyuma lw’omusajja ono okwewuuba okumala ekiseera, Nabbosa ne muganda we baasalawo banoonye omulimu omugenzi akole era we baamuttidde abadde anaatera okugenda atandike okukola aviire omusajja abadde amwesibyeko.

Omugenzi ne bba babadde balina omwana omu era nga baasooka kubeera Mbarara, omukazi kwe kulaba ng’omusajja ayitirizza okumubonyabonya kwe kunoba n’ajja e Mbuya omusajja gy’abadde amulumbanga ng’amupeeka okuddayo mu maka.

Kigambibwa nti, Deus abadde aliko awantu we yapangisa mu Mbuya w’abaddenga ava okwewuuba ku mugenzi ng’amupeeka okukomawo mu maka era nti abaddenga akyogera lunye nti, Nyanvura bw’anaagaanira ddala okudda ajja kumukola ekintu.

Poliisi yatuuse mu kitundu awaabadde ettemu lino era mu kunoonya yazudde ekiso ekyabadde kibunye omusaayi nga kisuuliddwa mu kasiko.

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, yategeezezza nti abantu babiri okuli Ivan Muzzanganda ne Patrick Olwor baakwatiddwa nga mu kiseera kino bakuumirwa ku poliisi ya Jinja Road.

Bano yagambye nti, baabagguliddewo fayiro nnamba SD.REF:33/21/07/2019. Era okunoonyereza kugenda mu maaso kubanga waliwo n’omusajja gwe baakafunako erinnya erimu erya Mukasa naye anoonyezebwa.

Betty Muteesi nga mutuuze mu zooni eno yagambye nti, Deus baludde nga bamulaba yeewuuba mu maka ga Nabbosa era ng’awera mu maaso g’abantu nga mukyala we Nyanvura bw’atajja kukkiriza basajja balala kumusigula nga yeekwasa nti amuyisa bubi.

Yafeesi Lukwitira, Ssentebe wa Kinnawataka yategeezezza nti ekitundu kino kijjuddemu obumenyi bw’amateeka era nga Nyanvura abadde muntu waakuna okuttibwa mu July kyokka tewali mutemu yali akwatiddwa.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...