TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Flying Squad bakutte omulala ku by’okubba bodaboda

Aba Flying Squad bakutte omulala ku by’okubba bodaboda

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd July 2019

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku luno baayodde omuvubuka Dan Mukasa, ow’omu Lukanga Zooni e Najjanankumbi.

Yomba1 703x422

Dan Mukasa

Ono agambibwa okuba nga y’akulira ekibinja kino mu disitulikiti ssatu; Mpigi, Butambala ne Gomba.

Okunoonyereza kwa poliisi kulaga nti Mukasa okusinga abadde abba bodaboda mu bitundu by’e Kyambalo, Kawuula, Kijonjo, Maddu, Kifamba, Buyinja - Butooro, Kanoni, Mpigi ne Butambala, oluvannyuma n’azitunda mu bagagga e Kampala.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango, yagambye nti n’abalala bangi be basuubira okukwata.

“Waliwo abalala be tunoonya era nga tulina essuubi nti tujja kubakwata kubanga abantu kati batandise okutuwa amawulire mu ngeri ya kyeyagalire.

Kino kigenda kutwanguyiza emirimu gyaffe,”Onyango bwe yategeezezza.

Okunoonyereza kwa poliisi kulaga nti waliwo ne pikipiki z’abadde abba mu Kampala okusinga mu bitundu by’e Makindye, Najjanankumbi, Namasuba, n’ebitundu ebiriraanyewo wabula ng’akatale akafuna mu bitundu by’e Mpigi, Butambala ne Gomba.

Kino kitegeeza nti pikipiki z’abadde abba mu Kampala ng’azitunda mu bitundu by’ebyalo ebirala, ate zabba mu byalo azireeta Kampala.

Ow’e Namasuba amulumirizza Poliisi yabadde yaakamukwata ne wabaawo omuvubuka Cosma Kiyimba, ow’e Namasuba n’agenda ku poliisi n’amulumiriza.

Kiyimba yategeezezza nti lumu yamuyingiza mu ddiiru ya bodaboda n’amutwala e Gomba, nti kyokka baali bakyali eyo, n’abaako akafo we yamuleka n’amugamba amulindire awo.

“Yakomawo oluvannyuma nga wayise akabanga katono ng’alina bodaboda gy’avuga n’ahhamba ntuule tugende.

Tuba twakatambulako olugendo lutono ddala n’ayimirira ng’ahhamba nti yali yeerabidde essimu ye e Gomba bwatyo n’ansaba ku ssimu yange agende nayo bw’atuukayo akube ku yiye asobole okugifuna,” Kiyimba bw’agamba.

Ayongerako nti bodaboda kwe baali batambulira yagimulekera n’atamanya lwaki yali yeewala okugenda nayo e Gomba gye yali alese essimu ate n’asalawo n’apangisa endala kwe yagendera.

“Nnali nnyimiridde nkyamulinda kye ssaamanya nti waaliwo abantu abaali bawondera pikipiki gye yali andekedde. Abantu bansalako okwali n’abaana abato nga ndaba basitudde emiggo eno nga bwe bakuba enduulu nga bagamba nti,… ”Omubbi…bannange omubbi wa bodaboda wuuno,” Kiyimba, bwe yategeezezza abaserikale.

Yayongeddeko nti bwe yalaba ng’obulamu bwe buli mu matigga yasalawo n’adduka emisinde kyokka amagulu ne gagaana okumweyimirira bw’atyo n’akwatibwa abatuuze ne bamukuba emiggo egyabula okumutta.

Agamba nti oluvannyuma poliisi okuva e Kanoni y’ajja n’emutaasa ku bantu abaali bataamye okukira ennumba, era ne bamuyingiza ekkomera.

Kigambibwa nti mu kiseera ekyo, Mukasa yafuna amawulire g’okukwatibwa kwa munne era bwatyo n’ayitira eyo n’adduka.

Kiyimba agamba nti oluvannyuma yatwalibwa mu kkomera ly’e Kanoni gye yamala emyezi esatu nga musibe.

Bino bigenze okubaawo nga poliisi yaakakwata abavubuka babiri okuli John Bosco Mugisha eyeeyita Mukiga, ne Alloysius Tamale, eyeeyita Patrick Ssekyewa, oluusi eyeeyita Young Mulo.

Bano kigambibwa nti be baalabikira mu katambi akasaasaana ku mikutu gya yintanenti egy’enjawulo, nga batemula owa bodaboda Derrick Mulindwa, e Kakeeka, mu Lubaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600