TOP

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki ze babbye

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd July 2019

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba babadde bazitunda e Katwe okuliraana Muganzirwazza nti waliwo omugagga waabwe omu abadde abayimirizzaawo ennyo.

Siiga 703x422

Enanga ( ku kkono) ne Owoyesigyire mu lukung’aana lwa bannamawulire.

Omugagga ono aba bodaboda baludde nga bamwemulugunyaako nga bagamba nti y’ali emabega w’ebibinja ebibba pikipiki n’okutta bannyini zo. Nti abavubuka bano ne bwe babeera nga tebamutwalidde pikipiki kyokka nga tebalina ssente, azibawa ne beebala lwe baba bamuleetedde pikipiki enzibe.

Nti omugagga oyo abadde abayamba ne mu kubayimbula nga bakwatiddwa naddala nga babasibidde ku poliisi eziriraanyeewo era aba bodaboda baludde nga beemulugunya ku poliisi y’e Katwe n’eya Old Kampala ku nkolagana yaabwe n’omugagga oyo.

Pikipiki endala nti babadde baziguza abagagga babiri ab’enjawulo, ng’omu ali Nyanama ate omulala ali Mutundwe.

Pikipiki oluzibawa nga bazitema sipeeya era ezibeera empya nga bazitambuliza mu biwagu mu mmotoka okuzisomosa okutuuka mu Arua anti era eyo omusuubuzi omulala okuva mu DR Congo nga w’aziggya n’azitwala era oluzituusa e Congo nga baddamu nga bazipanga nga bazissaako ennamba z’e Congo nga bazitunda.

Pikipiki ze baba babbye nga nkadde, bazitema sipeeya ne bamutunda.

Mu lulimi lwabwe, okubba pikipiki babadde bakiyita “kusika bitu” era nga mu kwogera n’omugagga nga bamukubidde essimu, asobola okubagamba nti “Leero njagala musikeyo ebitu bisatu” ng’olwo bamanya nti omugagga ekiro ekyo abaagaza pikipiki ssatu! Nabo mu kumukubira essimu nga basobola okumugamba nti, “Muzeeyi, leero tusiseeyo ebitu bibiri” nga bamutegeeza nti babbye pikipiki bbiri!

Ensonda zaategeezezza nti abavubuka bano baabuulidde poliisi amannya g’abagagga abo abasatu gye babadde batunda pikipiki ne bagigattirako n’amannya g’abantu abalala be babadde bakolagana nabo era poliisi eri mu kukuhhaanya ebikwata ku bantu bano nga tebannaba kubalumba kubaggalira.

Abavubuka bano baategeezezza poliisi nti, babadde tebabba mu Kampala mwokka wabula babadde bagenda mu bitundu ebirala okuli; Mukono, Mpigi, Wakiso, Mityana era abaserikale mu bitundu bino, bali mu kwekenneenya fayiro balabe emisango gye basobola okugattako.

Enanga yagambye nti poliisi era yazudde engoye Mulo ze yali ayambadde ku lunaku lwe batta Mulindwa nga zaasangiddwako omusaayi.Yagambye nti mu kunoonyereza okwakakolebwako ebinkumu ebyaggyibwa ku kikoofiira ky’oku mutwe ( Helmet) Mulindwa kye yali ayambadde bikwatagana buterevu n’ebya Mugisha era nga naye takyegaana.

Mugisha baamukwatira Ndeeba mu Nsiike Zooni ku ntandikwa ya wiiki ewedde era yasooka kutegeeza poliisi nti munne Mulo yattibwa ekibinja ky’aba bodaboda abaabalondoola nga baakamala okubba pikipiki e Mityana ne babataayiriza e Makindye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600