TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akabinja ka Young Mulo kabadde kaakatta aba bodaboda 11

Akabinja ka Young Mulo kabadde kaakatta aba bodaboda 11

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd July 2019

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Youngmulo 703x422

Young Mulo ( ku ddyo) ne Dan Yiga nga bali ku poliisi.

Mu Makindye wokka babadde baakattamu aba bodaboda mukaaga ate Lubaga bataano! Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga yagambye nti, poliisi yafunye ebikwata ku ba bodaboda bano be bazze batta.

Yagambye nti Mulo ne munne Mugisha baatutte abaserikale e Makindye ne babalaga ebifo eby’enjawulo 6 we battidde aba bodaboda era poliisi y’e Katwe n’ekakasa nti mu bifo ebyo byonna we baabatambuzza, bazze basangawo emirambo gy’abavuzi ba bodaboda ku nnaku ez’enjawulo mu myezi ebiri egiyise.

Oluvannyuma baatutte abaserikale mu bifo ebirala ebitaano mu Lubaga we battidde aba bodaboda era mu bifo ebyo, baabadde bawerekerwako poliisi ya Old Kampala.

Akatambi akaakwatibwa kkamera z’essomero e Kakeeka mu Lubaga we battira Derrick Mulindwa ze zaayambye okukwata John Bosco Mugisha amanyiddwa nga Mukiga ne munne Aloysius Tamale amanyiddwa nga Young Mulo era ne bakkiriza nti baamutta nti era babadde baakatta abantu 17 mu bbanga lye bamaze nga babba. Abantu abasinga ku bano babasse mu myezi 6 gyokka egisembyeyo.

Enanga yategeezezza nti Young Mulo ne banne babadde n’akakodyo k’okutwala ebiwandiiko byonna ku muntu gwe bakubye ennyondo kiremese okunoonyereza n’okumanya ebikwata ku muntu gwe basse amangu.

Be basse mu myezi ebiri gyokka kuliko; Damiano Ssekalaala gwe battira e Makindye okuliraana Makindye Country Resort nga April 24, 2019 ne bamutwalako pikipiki ye nnamba UEW 256G, Geoffrey Nkata baamutta nga June 3, 2019 mu Wasswa Zooni e Makindye, Emmanuel Gatete yattibwa March 13, 2019 baamuttira kumpi ne Klezia ya St. Agnes e Makindye, Abdul Nsubuga baamutta January 21, 2019 e Makindye mu Kizungu Zooni, Tom Wamala baamutta June 2, 2019 ate nga waliwo n’omulala ataalina biwandiiko gwe batta nga May 29, 2019 mu Kkanisa Zooni e Makindye.

Mu Lubaga poliisi okuva ku Old Kampala eteebereza nti ku lunaku kwe battira owa bodaboda Derrick Mulindwa nga kkamera zibalaba, battirako abantu babiri nga baasooka kutta Wilson Aheebwa gwe baapangisa okuva ssundiro ly’amafuta erya Hass mu Kisenyi ne bamuttira e Bukesa mu kiro kya June 30, 2019.

POLIISI YAAKABAGGULAKO EMISANGO 12

Enanga yagambye nti, baakabaggulako emisango 12 egy’ettemu. Babadde bakyusakyusa amannya era Mulo olumu abadde yeeyita Patrick Ssekyewa.

Baakwatiddeko abavubuka abalala abagambibwa okubaako ne kye bamanyi ku bubbi bwa bodaboda okuli; Umar Ssenyonga, Bob Mubale amanyiddwa nga Ben Musoga, Majid Bandiho amanyiddwa nga Kagame era bonna baabuuziddwa akana n’akataano okubaggyamu bye bamanyi.

Omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga yagambye nti abaakwatiddwa ku ttemu ly’aba bodaboda baabuulidde poliisi ebifo mwe baabattira era ne babatwalayo ne bannyonnyola n’okulaga engeri gye baabatta ekikakasa nti ddala be batemu ababadde abatadde aba bodaboda mu Kampala n’emiriraano ku bunkenke.

“Oluvanyuma lw’okukwata abeenyigira mu ttemu ly’aba bodaboda bingi ebizuuliddwa era nga tusobodde okutegeera n’abantu be batta kuba baatutte abaserikale mu bifo gye baabattira era kati twakabaggulako emisango 12,” Enanga bwe yategeezezza.

Yagambye nti poliisi mu kunoonyereza yakizudde ng’akabinja kano kabadde kakulirwa Mulo era ono ye yalabikira mu katambi ng’agwa Mulindwa mu bulago n’amutuga n’amukuba ku ttaka nga bw’amunyoola ensingo; olwo Mugisha n’alyoka akima ennyondo n’ayambulamu Mulindwa ekikoofiira (helmet) ku mutwe, n’amukuba okutuusa lwe yakakasa nti amusse!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600