TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Tuzudde enfo ya Mugisha eyatta owa bodaboda gy'abadde akasibira

Tuzudde enfo ya Mugisha eyatta owa bodaboda gy'abadde akasibira

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd July 2019

Bosco Mugisha eyakwatibwa ku katambi ne Young Mulo nga batuga owa bodaboda, abadde n’enfo mu Ndeeba w’abadde asinziira okubba n’okutta aba bodaboda.

Namu 703x422

Akabanda (mu kasonda) Mugisha waabadde akasibira ku mwala gw’omu Ndeeba.

Mugisha eyakazibwako erya Mukiga ye yatemula Derrick Mulindwa ng’ali ne Aloysius Tamale eyakazibwako Young Mulo.

Baamutta mu kiro kya June 30, e Kakeeka-Mengo. Mulo alabika mu katambi ng’anyoola Mulindwa ensingo olwo Mugisha n’alyoka aleeta ennyondo n’agikubisa Mulindwa okutuusa lwe yafa.

Mulo yakwatiddwa poliisi mu ssabo e Bukalango ku Lwokutaano ne kimalawo okukubagana empawa wakati wa poliisi ebadde egamba nti yattibwa mu bubbi obulala, n’aba ISO ababadde balumiriza nti Mulo akyali mulamu era aba ISO be bamulina.

Bukedde yagenze mu Ndeeba mu Kironde Zooni ng’eno Mugisha gy’abadde akolera emirimu.

Ebiseera ebisinga abimala ku mwala oguyita mu Kironde Zooni. Wano waliwo akafo mwe batuula.

Bwe bataba awo babeera munda mu kibanda kya ffirimu ekyazimbibwa mu mwala.

Abatuuze bamanyi bulungi Mugisha era bwe baalaba akatambi k’okutuga Mulindwa ne bategeeza poliisi nti omutemu bamumanyi era ne bagiyamba okumukwata. Mu Kironde zooni mu Ndeeba mu Lubaga mulimu poliisi.

Abaserikale baagambye nti Mugisha yali asala nsawo mu kibuga wakati gye yava n’asenga mu Ndeeba olwo n’atandika okuteega abantu naddala abakazi n’abanyakulako ensawo n’essimu. Abadde n’ekibinja ky’abavubuka b’akola nabo omulimu.

Basinga kubateegera ku luguudo lw’eggaali y’omukka. Abadde yaakakwatibwa emirundi musanvu n’aggalirwa kyokka ng’amenya akaduukulu ka poliisi (akaduukulu ka mbaawo) n’atoloka.

Omuserikale yagambye nti Mugisha yali abafuukidde ekizibu kubanga buli lwe yatolokanga ng’atolosa n’abasibe abalala.

Oluvannyuma kyasalibwawo buli lwe bamukwata bamutwalenga butereevu e Katwe.

Tekinnategeerekeka ngeri gy’abadde asobola kuva ku poliisi buli lw’akwatibwa. Kyokka Mugisha yabadde ategeezezza bambega wiiki ewedde nti alina omunene gw’akolera era buli lw’akwatibwa omunene oyo amuggya mu kkomera.

Wabula omuserikale yagambye nti ne ku poliiisi e Katwe, Mugisha alina ekibinja ky’ababbi abagenda ne bamweyimirira kubanga emisango egibadde gisinga okumuvunaanwa gibadde gyeyimirirwa, kyokka nga taddayo kugendayo okutuusa ate bwe baddamu okumukwatira mu bubbi obulala.

Mugisha yapangisaako akazigo mu Nsiike Zooni era n’awasizaamu omukazi gwe yazaalamu omwana. Oluvannyuma yatwala omukazi n’amupangisiza e Kawempe. Akwatagana ne Young Mulo Mugisha yali mubbi wa bintu byangu ng’amasimu.

Okukwatagana ne Young Mulo baamala kumutwala Luzira gye yamusanga bwe yavaayo ne bafuuka ba mukwano era kigambibwa nti Mulo ye yamutendeka mu bubbi bwa bodaboda n’okutemula. Mulo yavanga mu Kisenyi n’agenda ewa Mugisha.

Abadde asiiba mu kibanda kya Firimu Omu ku bakakiiko mu Kironde Zooni yategeezezza nti Mugisha obudde bw’emisana abadde abumala mu kibanda kya ffirimu n’okwebaka olwo emirimu n’agikola ekiro.

Yagambye nti ababbi abatigomya ekitundu babamanyi kyokka ekibamalamu amaanyi bwe batwalibwa ku poliisi bayimbulwa ne bakomawo ku kyalo ne batiisatiisa abatuuze. Mugisha alina ebbiina ly’abavubuka.

Bagumba ku kibanda kya ffirimu basuubula emyera gy’amatooke mwe beekweka nga bagutwala ng’omulimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...