TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi erabudde abasuubuzi b'oku Kaleerwe ku bavubuka abefuula abasuubuzi ne banyaga abantu

Poliisi erabudde abasuubuzi b'oku Kaleerwe ku bavubuka abefuula abasuubuzi ne banyaga abantu

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd July 2019

Poliisi erabudde abasuubuzi b'oku Kaleerwe ku bavubuka abefuula abasuubuzi ne banyaga abantu

Sab2 703x422

POLIISI erabudde abakulembeze b’obutule bw’oku kaleerwe ku bavubuka abefuula abasuubuzi n’ekigendererwa ky’okubba abantu .Bino byayogeddwa Thwair Kasembeza omumyuka w'atwala poliisi y’oku kaleerwe bwe yabadde atongoza ekibiina ky’abasuubuzi  b’omu katale ka Freedom eky’obwegasi ekya Freedom market kaleerwe vendors Co-operative society

 oliisi ngennyonnyola abasuubuziPoliisi ng'ennyonnyola abasuubuzi asembeza yategeezezza nti waliwo ekibinja ky’abavubuka abamenyi
b’amateeka abefuula abasuubuzi ne bateeka obuntuntu ku luguudon’ekigendererwa eky’okubba abantu ,buli poliisi  lwe yagala okubakwata nga bagamba basuubuzi we yasabidde abakulira obutale bwonna ku kaleerwe okugoba abavubuka kuba bavumaganya amanya g’obutale .

“Oluguudo lw’oku kaleerwe ku katale abavubuka bangi befuula abasuubuzi n’ekigendererwa ky’okubba abantu,banannyini butale mulina okusitukiramu okubatangira kuba poliisi buli lwegeezzako okubakwata bagamba basuubuzi “ Kasembeza bwe yategeezezza.

Yagasseeko  n’asaba  abakulira ebibiina by’obwegassi mu butale obutakumpanya ssente z’abasuubuzi kuba bazitereka n’ebigendererwa ebyenjawulo okuli okuwerera abaana , okusasula amayumba n’ebirala yavumiridde n’abasajja abasuliridde obuvunanyizibwa ne babulekeera abakazi ekiviriddeko abaana obutasoma Said Waisswa ssentebe w’abasuubuzi  yategeezezza  nti  alina abasuubuzi 1000  mu Freedom market ng’ekibiina kirimu   abasuubuzi 100 abatereka ssente okusinzira ku nfuna yaabwe  ze  bakozesa
okwongera mu bizinenzi  zaabwe , yagasseko n’asaba gavumenti
okubakwasizzako okulaba ng’abakulakulana .....

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kim1 220x290

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero...

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero okussa essira ku masomo agalina akatale

Det22 220x290

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior...

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior 6 ne mutabani ne basibagana mu bubonero.

Nom1 220x290

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka...

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka ku mukolo gw'okutuuza omulabirizi

Grave1 220x290

Abaffamire ya Nkoyooyo batabuse...

ABA FFAMIRE y’eyali Ssaabalabi­rizi w’ekkanisa ya Uganda, omu­genzi Bp. Livingstone MpalanyiNkoyoyo baguddemu ekikang­abwa...

Sit24 220x290

Abawala babuutikidde abalenzi mu...

Abawala babuutikidde abalenzi mu bya senior 6