TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Vanessa Ponce nnalulungi w’ensi yonna mutaka mu ggwanga

Vanessa Ponce nnalulungi w’ensi yonna mutaka mu ggwanga

By Martin Ndijjo

Added 23rd July 2019

Nnalulungi w'ensi yonna n'omutegesi w'empaka za 'Miss World'balaze ebigendererwa by'empaka zino.

Mm 703x422

Okuva ku kkono: Nanyonjo

Julia Morley omutegesi era nnannyini mpaka za ‘Miss World’ akubirizza Bannayuganda okwetanira bawagire empaka z’obwa nnalulungi ‘Miss Uganda’ olw'omulamwa n'olw’ebigendererwa byazo ebigendereddwamu okwongera okusituula abakyala n'okuyamba abali mu bwetavu.

Morley omutaka mu ggwanga azze ne nnalulungi w’ensi yonna, Vanessa Ponce enzaalwa ya Mexico.

Basinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku Sheraton akawungezi ka leero, Morlet nategezza nga empaka zino bwe ziri enungi ziyamba okwongera okusituula abakyala mu nsi yonna so si kutumbula buseegu nga abantu abamu bwe balowooza

Vanessa alina engule ya ‘Miss World’ gye yawangula mu December w’omwaka oguwedde mu mpaka ezaali e China nga mu zino Abenakyo yamalira mu bifo ebitaano ebisooka, atuuse misana ga leero ku bugenyi obw’ennaku nnya.

 okuva ku kkono anessa orley ne benakyo okuva ku kkono; Vanessa, Morley ne Abenakyo.

Ku kisaawe e Ntebe ayaniriziddwa nnalulungi wa Uganda era nnalulungi wa Afrika, Quiin Abenakyo ng’ali wamu n’abategesi b’empaka za Miss Uganda ssaako abakungu okuva mu kitongole kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku byobulambuzi ekya Uganda Tourism Board.

Brenda Nannyonjo omutegesi wa Miss Uganda ategeezezza nti mu bimu ku bintu Vanessa ne Morley bye bazze okukola kwe kulaba n’okulambula pulojekiti Abenakyo zaabadde akolako n’aba Miss Uganda Foundation omuli ey’okusomesa n’okubudaabuda abawala abazaala nga tebanneetuuka era basuubira bano okwongera amaanyi mu pulojekiti zino.

Mu birala Abenakyo by’abadde akola mulimu okugenda mu masomero ng’agabira abayizi abawala paadi ze bakozesa nga bali mu nsonga n’okudduukirira abatalina mwasirizi.

Mu nteekateeka eno bagenda kutuukako mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo omuli pulojekiti zino nga e Buyende mu Busoga oluvannyuma bajja kugendako ne mu bifo by’obulambuzi ebimu.

Vanessa era waakwetaba ne ku mukolo gw’empaka za Miss Uganda ez’akamalirizo ezigenda okubeerawo ku Lwokutano luno ku Sheraton Hotel okulaba nga balonda agenda okuddira Abenakyo mu bigere.

Nanyonjo yagambye nti, Vanessa ne Morley okwetaba ku mukolo guno kigenda kwongera ettutumu n’amaanyi mu mpaka zino mu ggwanga n’okuwa amaanyi oyo agenda okuwangula empaka z’omwaka guno n’okulaba we bamuyambira okutwala mu maaso pulejekiti ze. z’anaawomamu omutwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’