TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasima eby'obugagga by'omuttaka baagala Gavumenti eyanguye etteeka

Abasima eby'obugagga by'omuttaka baagala Gavumenti eyanguye etteeka

By Benjamin Ssebaggala

Added 25th July 2019

Abasima eby'obugagga by'omuttaka baagala Gavumenti eyanguye etteeka

Mwa2 703x422

Denis Sabiiti omubaka wa Lubanda ng'annyonnyola ku bukulu bw'etteeka

GAVUMENTI  ya Uganda egenda kuggulawo ekifo ekifo ng’abasima eby’obugagga eby’omuttaka balina ekifo webabitwala okubigula.

Kino yaakukituukako nga bamalirizza etteeka erirung’amya n’okulambika emirimu gy’abasima eby’obugagga ku mutendera gw’amakampuni amatono.

Bino byogeddwa kominsona mu minisitule y’ebyobygagga eby’omuttaka Agness Alaba nga baggulawo olukung’aana okuli n’omwoleso gw’abasima eby’obnugagga eby’omuttaka aboobukolero obutonotono.

 raba gness amisona wa minisitule yebyobugagga ebyomuttaka wakati nga bakubaganye ebirowoozo Araba Agness Kamisona wa minisitule y'ebyobugagga eby'omuttaka wakati nga bakubaganye ebirowoozo

Omwoleso ogutegekeddwa aba Africana Centre For Energy and Mineral Policy (ACEMP) gugguddwawo leero ku Lwokuna gukomekereza Lwakutaano ku Xanadu Hotel ku Mackinnon road e Nakasero mu Kampala.

Bwesigye Don Binyina akulira ACEMP ategeezezza nti kino kye kiseera gavumenti okuvaayo efeeyo ku basima eby’obugagga bino ng’ebasomesa n’okulondoola emirimu gye bakola kubanga yalwo okuleeta etteeka erirung’amya emirimu gye bakola.

Sentebe w’ekibiina Uganda Association of Artisanal And Small Scale Miners (UGAASM) ekigatta abasima eby’obugagga eby’omuttaka John Bosco Bukya asinzidde wano n’asaba gavumenti ebawe layisensi ebakkiriza okukola omulimu gwabwe.

Bukya agambye nti bawa abantu bangi emirimu naye bayigganyizibwa kale gavumenti bw’ebawa layisensi kijja kubayambako okukolera mu mateeka begazaanyize mu mulimu gwabwe.

Kominsona Alaba abategeezezza nti ekiseera kino gavumenti eri mu kwebuuza ku bakwatibwako era essaawa yonna bagenda kuyita aba UGAASM bawe ebirowoozo byabwe.

Alaba akiggumizza nti etteeka nga liwedde kyakuyambako gavumenti erambe ebifo ebirimu eby’obugagga eby’omuttaka bwe wabeerawo abaagala okubisima babateekerewo okuvuganya asinga aweebwe ttenda.

Kino kyakuyambako okumalawo enkola ebaddewo ng’abagezigezi beekwata ebifo webategedde nti waliwo eby’obugagga ne balemesa abalala abalina obusobozi okuyingirawo.

Dr. Kefa Kiwanuka (Kiboga) sentebe w’akakiiko akaola ku by’obugagga eby’omuttaka mu palamenti, ategeezezza nti kati ebbago ly’etteeka weriri batuuse ku mutendera gw’okwebuuza.

Etteeka lyakulambika ebintu bingi okuli okukugira okukozesa eddagala ery’obulabe okusima eby’obugagga by’omuttaka, okukugira okukozesa abaana mu birombe n’ebirala.

Agambye nti Uganda erina eby’obugagga eby’omuttaka bingi wabula olw’okubeera nti tewabaddeewo tteeka libirambika, eggwanga terisobodde kubifunamu sente kubanga buli ayagala asima n’atunda nga bw’alabye ne yeenogera ku sente.

Omubaka Denis Sabiiti Bamwoya owa Rubanda West agambye nti mu kitundu ky’akiikirira gavumenti yaggalawo ebirombe byonna nga temaze kugenda mu kitundu kubyetegereza.

Kino kikuumidde abantu mu bwavu asabye nga baleeta ebbago lino basooke bebuuze ku bantu basobole okukola etteeka erutuukana ne bye bakola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga