TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaalondeddwa mu People Power balaze kye bazzaako

Abaalondeddwa mu People Power balaze kye bazzaako

By Musasi wa Bukedde

Added 26th July 2019

Abaalondeddwa mu People Power balaze kye bazzaako

Ful1 703x422

ABAALONDEDDWA okukuliramu ttiimu egenda okuyiggira Bobi Wine obululu bwa 2021 balaze amakubo ge bataddewo agagenda okubatuusa ku buwanguzi. Medard Lubega Sseggona (Busiro East) eyaweereddwa okukuliramu ebitundu bya Kampala n’emiriraano yagambye nti omulimu omukulu gwe bagenda okutandikirako gwa kukunga bawagizi baabwe babeere bumu n’okuzimba abakulembeze okuva wansi ku byalo.

Kyokka olw’okuba People Power kisinde nga si kibiina kya byabufuzi kijja kubeetaagisa okutuula n’abantu abalala bonna abakkiririza mu nkyukakyuka bakkaanye ku bantu abalina okwesimbawo ku bifo eby’enjawulo.

Moses Bigirwa omu ku bakunzi mu kitundu ky’e Busoga yagambye nti ekikulu ekyabalagiddwa kwe kutegeka abantu nga beenyigira mu nkyukakyuka ezijja. Bagenda kusunsula abantu abagenda okwesimba ku bifo eby’enjawulo okuviira ddala ku byalo okutuukira ddala mu bubaka bwa palamenti.

Okukunga abatuuze okwetegekera enkyukakyuka ezijja. Bagenda kutandika okunoonya abantu abagenda okwesimba ku buli kifo. Buli mukolo ogutegekebwa mu kitundu, balina okukiikirirwa nga tebakkiriza NRM kwetaaya awatali abakuba ku mukono.

Bagenda Lwakutaano July 26, 2019 2 Bukedde AMAWULIRE kusomesa abavubuka okwenyigira mu bukulembeze n’okubayigiriza okukola bizinensi ez’enjawulo basobole okweggya mu bwavu.

Dr. Lulume Bayiga akwataganya ekitundu ky’e Mukono n’emiriraano yategeezezza nti ekikulu bagenda kulung’amya n’okukunga abantu bonna abaagala okuva mu NRM kuba ekisinde kye balimu kye kyokka ekisobola okutuusa eggwanga ku buwanguzi.

Eky’okuba nga bava mu bibiina eby’enjawulo yagambye nti tekijja kunafuya bibiina by’obufuzi, naye bagenda kweyongera amaanyi kuba okwerumaaluma kuweddewo.

Ensonda okuva mu kisinde kya People zaalaze nti okusoomoozebwa kwe boolekedde okusanga kwe kusunsula abantu abagenda okuvuganya ku lwe kisinde mu mbeera nga tebategeka kamyufu.

Okugeza bakyebuuza oba nga Medard Seggona anaawagira Latif Sebaggala ku bwa loodi mmeeya n’alekawo munywanyi we Erias Lukwago bwe bawoleza emisango mu kkampuni emu eya Erias Lukwago and Company Advocates.

EBIBIINA EBIRALA KYE BYOGERA

Gen Mugisha Muntu akulembera ekibiina kya ANT yasuubizza nga bwe bajja okukolagana obulungi n’ekisinde kya People Power n’abalala bonna abakkiririza mu kukozesa amateeka okukyusa obuyinza.

Bwe yabadde ayogera ku kya bammemba b’ekibiina kye ekya ANT abaalondeddwa mu kisinde kya People Power yagambye nti tekisaanidde kweraliikiriza bantu kuba si kizibu era bajja kukigonjoola.

Kyokka Ssaabawandiisi wa DP, Gerald Siranda yalabudde aba People Power okubeera abeegendereza n’okukakasa nti be baalonze tebaatataaganya mirimu gya bibiina. Dr. Kiiza Besigye mu bubaka bwe yafulumizza yayozaayozezza Bobi Wine n’agamba nti abaalondeddwa asuubira nti bagenda kuyambako okulwanirira emirembe, eddembe ly’obuntu n’enfuga ya demokulaasi mu ggwanga.

Bobi Wine bwe yabadde atongoza ttiimu y’okumunoonyeza obululu yakinogaanyizza nti ekisinde kya People Power si kibiina kya byabufuzi. Yalaze nti bali mu mugendo ogugatta abantu bonna nga tebafudde ku maddiini , amawanga wadde ebibiina byobufuzi eby’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...