TOP

Eby’olumbe lwa Ssebaana bizzeemu enkalu

By Josephat Sseguya

Added 26th July 2019

Eby’olumbe lwa Ssebaana bizzeemu enkalu

Seb3 703x422

WABALUSEEWO obutakkaanya mu kuteekateeka olumbe lw’eyali Pulezidenti wa DP, John Ssebaana Kizito eyali muninkini we bw’atabuse nti lwaki bamusudde bbali mu nteekateeka. Yeegatiddwaako bakaabaana babiri nga bonna balumiriza mutabani Joseph Mubiru okubasuula ebbali.

Batiisizzatiisizza okutegeka olumbe olwabwe Leero (Lwakutaano) ekiba kibe. Okutabuka kwa bano tekulobedde nteekateeka kugenda mu maaso era olukiiko olutegesi lugamba nti byonna byawedde era tewali kisobola kuyimirizisa mikolo..

Omu ku batuula ku lukiiko luno (amanya gasirikiddwa) yategeezezza nti olumbe baaluyisa mu mitendera gyonna egikkirizibwa mu nnono. “Kabaka twamutegeeza, abakungu bonna e Mmengo tuli nabo , abakulu b’ekika batulungamizza bulungi ate n’abafamire bonna bakimanyi.

Bannabyabufuzi naddala aba DP bakimanyi era tetusuubira muntu yenna kwemulugunya nti waliwo ekibuusiddwa amaaso. Luno olumbe lwa muntu wa kitiibwa olutasaana kulwaniramu wadde okwogererwamu ebintu ebiyinza okutyoboola famire ya kitaffe Ssebaana kizito.

Yalaze nti ekirungi teruliiko kwesondamu ssente buli kimu kyakolebwako dda aba Famire nga bakulembeddwa Joseph Mubiru. Ku kiraamo yategeezezza nti kyafunibwa dda weekiri nti omusika takyaliko kubuusabuusa amanyiddwa kubanga yalekawo mutabani omu era ekiseera kino y’addukanya famire.

 Omusika Joseph Mubiru.

Yagambye nti ekiraamo kyatandikibwa dda okussibwa mu nkola kubanga ebintu byagabibwa dda ebyalivuddeko okusika omuguwa buli mwana n’abantu abateekeddwa okuweebwa baafuna dda kati ekiriwo kugyawo lumbe .

Akola nga ssaabawandiisi wa DP, Gerald Siranda yasiimye olukiiko olutegesi okubategeeza ku mikolo gyonna era n’asaba bammemba b’ekibiina bajjumbire okwetaba ku mikolo gino. Olumbe lugenda kusulwamu leero ku Lwokutaano e Kansanga oluvannyuma okulaga omusika kubeere mu maka g’omu kyalo e Kalule ku Lwomukaaga.

AWAVA EMBIRANYE Obutakkaanya obuliwo buli wakati wa nnamwandu wa Ssebaana, Rose Nabirye eyali amulabirira we yafi ira mu 2017 nga mukyalawe omukulu, Susan ali Bungereza n’omu ku beeyise aba famire ya Ssebaana ali e Bungereza kati awanyisiganya ne nnamwandu ebigambo.

Babadde bakyetwala ne muyingiramu bannamwandu ba mutabani wa Ssebaana, Job Muwanga Kizito abagamba nti aba famire ya Ssebaana baabasuulira bazzukulu baabwe okuva Ssebaana lwe yafa ate nga Ssebaana yaleka abakuutidde okubalabirira.

Nabirye ye yasooka okwemulugunya ku nkwata y’ebintu bya Ssebaana ng’agamba nti abamu ku b’ekika babikutte bubi naddala eby’obugagga nga waliwo abazzukulu omuli ne Alexander Kizito, 19 Ssebaana gwe yamugambanga nti y’alibeera omusika we naye essaawa eno omwana oyo yeetaaga buyambi.

Byabadde biri bityo aba famire ne bawulira nti Nabirye alina omwana gw’ayita owa Ssebaana nga naye ayagala agabane ku by’obusika. Omu ku bantu eyeeyiseomwana wa Ssebaana (Sarah) yakubidde omusasi waffe ssimu ng’asinziira mu kibuga London ekya Bungereza n’amutegeeza nga Nabirye bw’aliko ekimusumbuwa kubanga ne Ssebaana we yafi ira nga yasannyalala tayinza kwegatta.

NABIRYE ATADDE AKAKA Oyo bamuyita Sarah y’antambulirako naye banveeko. Ssebaana yangamba nti obwomu bumutta. Naleka abaana bange basatu e Busoga ne nzija muyambeko mu 2014.

Ssaagala bugagga bwa Ssebaana, njagala mazima ku bya bugagga bye. Ekirungi yafa byonna abigabye nange yampa ebyapa by’ettaka munaana, nnina mayumba e Kajjansi, Kitende, Ndejje-Lubugumu ate e Mbale nina ‘street’ nnamba.

Kyokka bamaama b’abamu ku bazzukulu ba Ssebaana omuli Maama Napoleon ne Maama Alexander baabagoba ku Sure House ya Ssebaana ku Bombo road era bali bubi. Sirina mwana wa Ssebaana nga bwe bansibako nti njagala kumufunirako bintu.

Omugenzi yayagala muzaalire omwana omulenzi naye bwe twagenda mu ddwaaliro lya Paragon baazuula nti nnina amagi g’abaana bawala bokka ate yali ayagala mwana mulenzi. Ssebaana ng’alwana banteekemu ag’abaana abalenzi ne birema kyokka bwe twayiiya ennyo ne banteekamu olubuto lw’abaana basatu ne luvaamu nga n’abasawo baali bamugambye nti tekijja kusoboka. Wabula era yafa musanyu ku lwange abo bandibadde bampa n’ekirabo olw’okumulabirira mu kifo ky’okunzivoola.

Ssebaana yang’amba nti Alexander y’amusikiranga bwe baba bawakana bakebere ekiraamo kye. Ku Lwokutaano ngenda kukuma olumbe lwa Ssebaana e Kajjansi ndage n’abantu amasuuti ga Ssebaana 16 ge yaleka ewange era ku Lwomukaaga 27 July, 2019 ngenda kukeera kugatwala mu lumbe ngaweeyo eri omusika. Nnina obutambi bwe nakwata Ssebaana bungi omuli n’obumu ng’ayogera bw’ayagala ebintu bye bitambule n’alaga n’omusika we era abantu abo bandibadde bankwata bulungi. Wabula abooluganda lwa Ssebaana bagamba nti Nabirye tajja kufuna kantu konna ate talina mwana wa Ssebaana gw’ajja kuleeta kubanga tamulina.

Mikwano gya Nabirye bagamba nti waliwo aba famire ya Ssebaana abaabuzaabuzibwa bwe baawulira Alexander alabirirwa Nabirye ne balowooza y’amuzaala era amuleeta ku busika.

MUKAMWANA ABIYINGIDDEMU; Shannarah nnamwandu wa mutabani wa Ssebaana, Job Muwanga Kizito (yafa) nga y’azaala Alexander agamba nti abaana basatu abaali balabirirwa jjajjaabwe Ssebaana naddala ku ffi izi kyokka kati tekikyakolebwa nga basooka kubeegayirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.