TOP

Basse omugagga ne bamuggyamu amaaso

By Musasi wa Bukedde

Added 26th July 2019

Basse omugagga ne bamuggyamu amaaso

Mak1 703x422

Omugenzi Hajati Mayanja

ABATEMU bayingiridde omusuubuzi omututumufu mu kibuga Masaka ne bamutemaatema ne bamutta oluvannyuma ne babba ebintu ebiwerako omuli n’ensimbi enkalu. Hajati Nantaayi Mayanja 57, abadde musuubuzi w’amaanyi mu kibuga Masaka nga musuubuzi wa ngoye z’abadde aggya ebweru, ng’edduuka lye eriyitibwa Banakinsige Enterprises lisangibwa ku luduudo Elgin mu kibuga Masaka. Omugenzi mu maka ge abadde asulamu yekka.

Gasangibwa mu zooni ya Katwe- Butego mu kibuga Masaka. Ettemu lino lyabaddewo ku Mmande ekiro, kyokka ng’omulambo gwe tegwasoose kulabirwawo oluvannyuma lw’ettemu lino.

Hajati Nantaayi yakoma okulabwako ku Mmande emisana ng’ali mu dduuka lye akola nga bulijjo era essaawa bwe zaatuuka kw’annyukira, yasibawo n’adda ewuwe okwebaka. Ku Lwokubiri edduuka teryagguddwa abantu ne beebuuza gyali.

Baakubye ku ssimu ze nga teziriiko. Baatuuse awaka nga ggeeti nsibe ne batandika okweraliikirira era wano kwe kusalawo ne bategeeza poliisi eyazze n’abamu ku b’emikwano gye.

Abaserikale baabuuse ekikomera ne bagwa munda. Baabadde baakatuuka munda, amaaso gaakubye ku mulambo gwa mugenzi ogwabadde gusuuliddwa mu mulyango wakati mu kitaba ky’omusaayi ng’alabika yattibwa ennaku nga bbiri emabega.

Bwe beetegerezza baakizudde nti omugenzi yabadde asaliddwa obulago nga n’amaaso gombi gatunguddwaamu mu ngeri ey’obukambwe era nga ku mutwe kuliko ebiwundu ebinene ebyasimye enkompe ekiraga nti yakubiddwa ekintu ng’akabazzi ekyamuwomoggodde omutwe.

Omulambo gwasangiddwa mu ppeti nga kiteeberezebwa nti abatemu baamusaze yeebase ne bamuggya mu buliri ne bamutta. Mu ddiiro waasangiddwaawo omusaayi ogwasammuse ku bisenge nga n’ebintu bitinkuddwa nnyo.

Mu bimu ku bintu by’omugenzi ebyabbiddwa, mwabaddemu ttivvi ssatu, firiigi bbiri kyokka eyookusatu yasangiddwa bweru nga kirabika yabalemeredde okutwala. Amasimu ge gonna baagatutte kyokka gano baasoose kugaggyamu kaadi zo ne bazisuula awo.

Kirowoozebwa nti ababbi baatutte ssente eziwerako olw’engeri gye baatinkuddemu ebintu mu kisenge, kyokka zo emmotoka ebbiri ey’ekika kya Toyota RAV 4 nnamba UAT 700Y ne ttipa gye yabadde yaakagula baazireseewo.

Hajati abaana be bwe baakula ne bava awaka era abadde asulawo yekka. Mu maka ge abadde amerusizaawo emmwaanyi n’emiti emirala by’abadde aguza ab’ekitongole kya Wealth Creation.

Omu ku baliraanwa be ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategezezza nti ku Lwokubiri yawulidde mmotokka ya Hajati ng’ekuba akagombe munda mu kisaakaate kyokka teyakifuddeko.

Eyali ssentebe wa disitulikiti ye Masaka, Joseph Kalungi yennyamidde olw’ettemu lino n’agamba nti Hajati Mayanja ebbanga si ddene nnyo abadde yaakakola ne Hijja. Yasabye poliisi okunoonyereza ekituufu ekiri emabega w’okuttibwa kw’omukyala ono.

Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, ASP Paul Kangave yategeezezza Bukedde nti poliisi yatandikiddewo okunoonyereza oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okutemulwa kw’omusuubuzi ono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

dith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...