TOP

Nnannyini ttaka bamukutte lwa kutta musenze

By Musasi wa Bukedde

Added 26th July 2019

Nnannyini ttaka bamukutte lwa kutta musenze

Xom2 703x422

Sserwadda nga yaakakwatibwa poliisi.

NNANNYINI ttaka avudde mu mbeera n’afumita omusenze ekiso mu kifuba ekimusse ng’amulanga kwezza ttakya lye ng’akozesa olukujjukujju. Musa Sserwadda 42 ow’e Ssennyondo mu bizinga by’e Bunjakko mu ggombolola y’e Buwama mu Mpigi ye yasse Musa Nkulunziza 53 gwe yasenza ku ttaka lye emyaka 15 egiyise kyokka n’ayagala okulyezza.

Sserwadda abadde aludde ng’agugulana ne Nkulunziza ku bwannannyini bw’ekibanja era yamusanze mu luggya n’amusaba bayingire mu nnyumba babeeko bye bateesa. Kyokka olwatuuse mu nnyumba n’amuggyirayo ekisso n’akimusoga mu kifuba n’adduka.

Baliraanwa ba Nkulunziza abaawulidde ng’alaajana be baataayizza Sserwadda ng’agezaako okudduka ne bamukwata kyokka baagenze okutuuka mu nnyumba baasanze Nkulunziza nga agudde wansi avaamu omusaayi mungi era naafiirawo. Abatuuze baatemezza ku poliisi y’e Buwama eyazudde ekiso Sserwadda kye yakozesezza mu ttemu ne bamutwala ku poliisi y’e Mpigi gy’akuumirwa.

Sserwadda kigambibwa nti yakkirizza nga bwe babadde n’obutakkaanya ne Nkulunziza kyokka ne yeegaana eby’okumutta nti tabimanyiiko ng’agamba nti wandibaawo omuntu amulala eyakikoze kubanga abadde atera okubba bakabasajja.

Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Phillip Mukasa yagambye nti omukwate agguddwaako omusango gw’obutemu ku fayiro nnamba CRB; 188/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi