TOP

Aleppuka na gwa kutta muganzi we

By Musasi wa Bukedde

Added 26th July 2019

Aleppuka na gwa kutta muganzi we

Wet2 703x422

Lubega

SSEMAKA agambibwa okusalako mukazi we obulago ng’amulanga okufuna omusajja omulala asimbiddwa mu kkooti enkulu e Luweero ey'Omulamuzi Vincent Tonny Okongo, n'amusindika ku limanda okutuusa nga July 30, omusango gwe lwe guliddamu okuwulirwa.

Edward Lubega (48) avunaanibwa okusalako mukazi we Flavia Namata omutwe n'aguziika mu kibira kya kalittunsi ate ekiwuduwudu n'akivuga okwolekera omugga Mayanja ku luguudo lwa Hoima.

Namata (40) yali Metulooni ku ssomero lya Light High school e Sseguku, Lubega naye gye yali akolera nga yatemulwa June 4, 2016 ekiwuduwudu ne kizuulibwa ku kyalo Ddambwe ku lubalama lw'Omugga Mayanja.

Lubega yategeezezza omulamuzi nti yabadde wa kwewozaako nga talayiddekyokka yagaanyi okutandika okwewozaako ng'agamba nti omusujja gwabadde gumuluma kw’ossa alusa ne puleesa n'asaba kkooti emuweeyo akabanga atereere. Omulamuzi Okongo yawadde olwa July 30 okutandika okwewozaako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....

Send 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

NZE Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...