TOP

Aba DP e Luweero balonze ttiimu

By Musasi wa Bukedde

Added 26th July 2019

Aba DP e Luweero balonze ttiimu

Deb2 703x422

BANNAKIBIINA kya DP mu disitulikiti y’e Luweero balonze olukiiko lwa bantu 30 okutalaaga amagombolola ag’enjawulo okusaggula obuwagizi basobole okweriisa enkuuli mu kulonda kwa 2021.

Olukiiko lwatongozeddwa Dr. Abed Bwanika nga lukulemberwa eyaliko omubaka omukazi owa Luweero Brenda Nabukenya nga lwa kulaba nga bannakibiina beewala enjawukana n’okukomyawo abaayabulira ekibiina kino beegattire wamu okusobola okusiguukulula NRM mu buyinza.

Dr. Bwanika yagambye nti okuva eggwanga lwe lyefuga DP eyali emaamidde yandibadde yatwala dda obuyinza kyokka entalo mu kibiina zizze zibalemesa ne babakuba bbusu n’okubatwalako abasajja ehhwahhuli nga kati bali mu kwetereeza omuli okukomawo mu kibiina basobole okukukumba ebifo by’obukulembeze mu kulonda okuddako.

Yasabye abavubuka okukozesa omukisa gw’obungi bwabwe beenyigire mu nteeketeeka z’okulonda era basuule obululu bungi basobole okutikkula jjajjaabwe (Museveni) omugugu bafune abakulembeze b’omulembe gwabwe.

Yayongeddeko nti bwe banaalemwa baakusigala mu byalo kusamba nnanda kuba ne Museveni abantu gwe batinkiza naye obuvubuka yabukozesa okulwanyisa effugabbi lya Obote.

Poliisi etabangula olukiiko BannaDP baabadde bakyagenda mu maaso n’okuteesa poliisi n’eyingirawo ng’ekulemberwa DPC n’ebalagira okwamuka ekifo kuba tebaafunye lukusa era olwamaze okulya emmere buli omu n’atambula ng’adda gye yavudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....